bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Philippians 2
Philippians 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
Okuba aba Kristo kibawa amaanyi? Okwagala kwe kubasanyusa? Mussa kimu ne Mwoyo Mutuukirivu? Mukwatirwagana ekisa, era musaasiragana?
2
Kale munzijuze essanyu nga mussa kimu, nga mwagalana, nga mulina omwoyo gumu, era nga mukkiriziganya.
3
Temukolanga kintu na kimu mu kwepanka, wadde mu kwefaako mwekka, wabula mukolenga byonna mu bwetoowaze, nga temulowooza nti mmwe musinga abalala.
4
Temufanga ku byammwe byokka, naye mufenga ne ku by'abalala.
5
Mubenga n'endowooza nga Kristo gye yalina:
6
Yalina obulamu obw'Obwakatonda, kyokka teyalemera ku kwenkanankana ne Katonda,
7
wabula yeggyako ekitiibwa, n'afuuka omuweereza. Yeefuula omuntu nga ffe.
8
Era bwe yessa ku mutindo gw'abantu, ne yeetoowaza, n'aba muwulize n'atuukira ddala ku kufa, ate okufa okw'oku musaalaba.
9
Katonda kyeyava amugulumiza ennyo, n'amuwa erinnya erisinga amannya gonna,
10
bonna abali mu ggulu, n'abali ku nsi, era n'abali wansi w'ensi balyoke bafukaamirirenga erinnya lya Yesu,
11
era bonna baatulenga nti Yesu Kristo ye Mukama, Katonda Kitaffe alyoke aweebwe ekitiibwa.
12
Kale abaagalwa, nga bwe mwali abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe, mube bawulize nnyo n'okusinga bwe mwali. Mmwe mwennyini mukolererenga okulokolebwa kwammwe, nga mutya era nga mukankana,
13
kubanga Katonda ye akolera mu mmwe okubaagazisa n'okubasobozesa okukola by'ayagala.
14
Byonna mubikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka,
15
mulyoke mube nga temulina musango, wadde kye munenyezebwa, mube baana ba Katonda abatalina bbala, nga muli mu nsi ejjudde abantu ababi era aboonoonefu. Muteekwa okulabika mu bo nga muli ng'emmunyeenye ezimulisa eggulu,
16
nga mubatuusaako ekigambo ky'obulamu. Bwe munaakolanga bwe mutyo, ndiba n'eky'okwenyumiriza ku lunaku Kristo lw'aliddirako, kubanga ekyo kiriraga nti okufuba n'okukola kwange tebyafiira bwereere.
17
Singa omusaayi gwange guyiibwa ne gutabulwa n'ekitambiro kye muwa Katonda, kwe kukkiriza kwammwe, nsanyuka ne neesiima wamu nammwe mwenna.
18
Era nammwe muteekwa okusanyuka bwe mutyo, n'okwesiima awamu nange.
19
Mukama Yesu Kristo bw'alyagala, nsuubira okubatumira mangu Timoteewo, ndyoke ŋŋume omwoyo olw'okutegeera ebibafaako.
20
Sirina mulala asobola kubalumirwa nnyo nga ye.
21
Abalala bonna bafa ku byabwe byokka, tebafa ku bya Yesu Kristo.
22
Kyokka Timoteewo mumumanyi nti asaana. Mumanyi bw'aweereza awamu nange, ng'ali ng'omwana akola ne kitaawe, nga tukola omulimu gw'okubunyisa Amawulire Amalungi.
23
Kale oyo gwe nsuubira okutuma gye muli, amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera.
24
Era nkakasa nti Mukama bw'alisiima, nange nzennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja gye muli.
25
Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuradito gwe mwantumira okunnyamba mu byetaago byange, era gwe nkola naye, nga tulwanira wamu.
26
Ayagala nnyo okubalabako mwenna, kyokka yanyolwa nnyo bwe yamanya nti mwawulira bwe yalwala.
27
Ddala yalwala, era yali kumpi okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira, obulumi bwange ne buteeyongerako.
28
Kyenva njagala ennyo okumutuma gye muli, mulyoke musanyuke okuddamu okumulabako, nange ndyoke nkendeeze ku kunakuwala kwange.
29
Kale mumwanirize n'essanyu lingi ng'owooluganda mu Mukama waffe. Abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa,
30
kubanga yabulako katono okufa, ng'ali ku mulimu gwa Kristo, bwe yawaayo obulamu bwe, alyoke annyambe ku lwammwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4