bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Philippians 4
Philippians 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Kale baganda bange be njagala ennyo, era be nnumirwa, mmwe ssanyu lyange, era mmwe ngule yange. Abaagalwa, munywererenga bwe mutyo mu Mukama.
2
Neegayirira Ewudiya ne Suntuke basse kimu mu Mukama.
3
Era nsaba ggwe mukozi munnange omwesigwa, oyambenga abakazi abo, kubanga baakolera wamu nange omulimu gw'okubunyisa Amawulire Amalungi. Abo awamu ne Kelementi, era n'abakozi bannange abalala, amannya gaabwe gawandiikiddwa mu kitabo ky'obulamu.
4
Musanyukirenga mu Mukama bulijjo. Nziramu okubagamba nti musanyukenga.
5
Abantu bonna bamanye nga bwe muli abakkakkamu, Mukama ali kumpi okujja.
6
Temweraliikiriranga kintu na kimu, naye byonna mubitegeezenga Katonda, nga mumusaba, nga mumwegayirira era nga mumwebaza.
7
Emirembe gya Katonda egisukkiridde okutegeera kwaffe, ginaakuumanga emitima gyammwe n'emyoyo gyammwe, nga biri wamu ne Yesu Kristo.
8
Abooluganda eky'enkomerero, ebyo byonna eby'amazima, ebissibwamu ekitiibwa, ebituufu, ebirongoofu, ebyagalibwa, n'eby'ettendo, bye muba mulowoozangako.
9
Ebyo bye nabayigiriza ne bye nabawa, ebyo bye mwawulira njogera, ne bye mwalaba nkola, era bye mubanga mukola, bye mubanga mutambuliramu, olwo Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe.
10
Nfunye essanyu lingi mu Mukama, kubanga kaakano, nga wamaze okuyitawo ebbanga ddene, muzzeemu okunfaako. Kya mazima mwali munfaako, naye mwali temulina bbanga.
11
Njogera kino si lwa kuba nti ndiko kye neetaaga, kubanga nayiga obutajulirira kantu mu buli mbeera gye mbaamu.
12
Mmanyi okuba omwavu, era mmanyi okuba omugagga. Mu buli ngeri, ne mu mbeera zonna, nayiga okukkuta n'okulumwa enjala, okuba n'ebingi n'obutaba na kantu.
13
Nnyinza okugumira byonna olw'amaanyi ga Kristo g'ampa.
14
Kyokka mwakola bulungi okunziruukirira mu kubonaabona kwange.
15
Era mmwe ab'e Filippi mumanyi nti bwe natandika okutegeeza abantu Amawulire Amalungi nga nva e Makedooniya, tewaali kibiina ky'abakkiriza Kristo na kimu ekyampaayo akantu olw'ebyo bye kyafuna, okuggyako mmwe mwekka.
16
Era ne bwe nali mu Tessalonika, mwampeereza ebyokunnyamba, si mulundi gumu, wabula ebiri.
17
Ekirabo si kye njagala, naye kye njagala kwe kulaba nti bye mufuna byeyongera obungi.
18
Naye kaakano mmaze okufuna ebisinga ku ebyo bye neetaaga. Nzijudde olw'okufuna bye mwampeereza, Epafuradito bye yandeetera. Ebirabo bino biri ng'akawoowo akalungi ennyo ak'ekitambiro ekisanyusa, era ekisiimibwa Katonda.
19
Kale Katonda wange alibawa buli kye mwetaaga, ng'aggya ku bugagga bwe obungi, obuli mu Kristo Yesu.
20
Katonda waffe, era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe gyonna. Amiina.
21
Mulamuse abantu ba Katonda bonna abakkiriza Kristo Yesu. Baganda baffe abali nange babalamusizza.
22
Era abantu ba Katonda bonna, na ddala abo abali mu lubiri lwa Kayisaari babalamusizza.
23
Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga mmwe ekisa.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4