bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Philippians 3
Philippians 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Kale kaakano baganda bange, musanyukirenga mu Mukama. Okuddamu ebyo bye nabawandiikira edda tekunkooya, ate mmwe kwongera kubanyweza.
2
Mwekuumenga ab'empisa embi, era abakomola omubiri obubiri, be mpita embwa.
3
Ffe bakomolebwa abutuufu, kubanga tusinza Katonda nga Mwoyo we bw'atulaga, era twenyumiririza mu Yesu Kristo. Tetwesiga bikolebwa bukolebwa ku mubiri.
4
Ne bwe kwandibadde okwesiga ebikolebwa obukolebwa ku mubiri, nze mbasinga abo.
5
Nze nakomolebwa ku lunaku olw'omunaana okuva ku kuzaalibwa kwange. Eggwanga lyange, ndi Muyisirayeli, ow'omu Kika kya Benyamiini. Ndi Mwebureeyi wawu, omwana w'Abeebureeyi. Nali mu kibiina ekisinga okukwata amateeka g'Ekiyudaaya, kye ky'Abafarisaayo.
6
Mu kunyiikira, nayigganya ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, era mu kukwata amateeka g'Ekiyudaaya, saaliko kye nnenyezebwamu.
7
Naye ebyo byonna ebyali eby'omugaso gye ndi, nabiraba ng'okufiirwa olwa Kristo.
8
Ddala ebintu byonna nabiraba ng'okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Mukama wange, kisinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng'ebisasiro olw'okufuna Kristo ng'empeera yange,
9
ndyoke mbeere mu ye, nga sirina butuukirivu bwange ku bwange, obuva mu kukwata amateeka g'Ekiyudaaya, wabula nga nnina obwo obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda, obwesigamye ku kukkiriza.
10
Kye njagala kwe kutegeera Kristo era n'okutegeera amaanyi agava mu kuzuukira kwe. Njagala okugabana ku kubonaabona kwe, era n'okumufaanana mu kufa kwe,
11
nga nsuubira nti nange ndizuukira.
12
Sigamba nti ekyo mmaze okukifuna, oba nti mmaze okutuukirira, wabula ŋŋenda mu maaso, nga ngezaako okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera mu kunfuula owuwe.
13
Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola, kwe kwerabira eby'emabega, ne nduubirira ebiri mu maaso.
14
Ŋŋenda mu maaso, ntuuke ku kiruubirirwa, awali ekirabo eky'obulamu obw'omu ggulu, Katonda kye yampitira mu Kristo Yesu.
15
Kale ffe abakuze mu kukkiriza, ekyo kye tuba tulowoozanga. Naye oba kye mulowooza kirala, na kino Katonda alikibalaga.
16
Naye tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.
17
Abooluganda, mungobererenga mwenna, era mugobererenga abo abalina empisa ng'ezaffe.
18
Ekyo nkibabuulidde emirundi mingi, era kaakano nkiddamu nga nkaaba n'amaziga, nti waliwo bangi, mu mbeera z'obulamu bwabwe, abafuuse abalabe b'omusaalaba gwa Kristo.
19
Enkomerero yaabwe, kuliba kuzikirira. Olubuto ye Katonda waabwe, ebyandibakwasizza ensonyi bye beenyumiririzaamu, n'ebirowoozo byabwe babimalidde ku bya nsi.
20
Naye ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era eyo Omulokozi, Mukama Yesu Kristo gye tumulindirira okuva.
21
Emibiri gyaffe eminafu egifa, aligifuula ng'ogugwe ogwekitiibwa, ng'akozesa amaanyi agamusobozesa n'okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4