bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ruth 1
Ruth 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
1
Awo olwatuuka mu nnaku ezo, abalamuzi nga be bakulembeze mu Yisirayeli, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja eyabeeranga mu Betilehemu eky'omu Buyudaaya, n'agenda ne mukazi we, ne batabani baabwe babiri, okubeera mu nsi y'e Mowaabu.
2
Omusajja oyo yali ayitibwa Elimeleki, mukazi we nga ye Nawomi, batabani baabwe bombi, omu nga ye Maaloni, omulala nga ye Kiliyooni. Abantu abo baali ba mu nnyumba ya Efuraati. Baava mu Betilehemu eky'omu Buyudaaya, ne batuuka mu nsi y'e Mowaabu. Bwe baali bali eyo,
3
Elimeleki n'afa, Nawomi n'asigala ne batabani be bombi.
4
Ne bawasa abakazi Abamowaabu, Orupa ne Ruusi. Nga wayiseewo emyaka nga kkumi,
5
Maaloni ne Kiliyooni nabo ne bafa. Bw'atyo Nawomi n'aviibwako bba ne batabani be bombi.
6
Awo Nawomi ng'ali mu nsi y'e Mowaabu, n'awulira nga Mukama yawa abantu be omukisa, ne babaza emmere nnyingi. Kyeyava asituka ne bakaabaana be, ave mu nsi y'e Mowaabu.
7
Bakaabaana be baasituka wamu naye okuddayo mu Buyudaaya. Kyokka bwe baali mu kkubo,
8
Nawomi n'abagamba nti: “Muddeeyo ewammwe, mubeere ne bannyammwe. Mukama abakwatirwe ekisa, nga nammwe bwe mwakikwatirwa nze, era n'abo abaafa.
9
Era Mukama asobozese buli omu ku mmwe okuddayo okufumbirwa, n'okufuna amaka.” N'abanywegera okubasiibula. Naye bo ne batandika okutema emiranga n'okukaaba amaziga,
10
ne bamugamba nti: “Nedda, tujja kugenda naawe mu bantu bo.”
11
Nawomi n'agamba nti: “Muddeeyo, baana bange. Lwaki mwagala okugenda nange? Mulowooza nti nkyasobola okubazaalira abalenzi babawase?
12
Muddeeyo, baana bange, mugende, kubanga nze nkaddiye, sikyaddamu kufumbirwa. Ne bwe nandigambye nti nkyasuubira okufumbirwa, ne mba n'omusajja ekiro kino, ne nzaala abaana ab'obulenzi,
13
kale mwandirinze okutuusa lwe bandikuze? Era ekyo kibaziyiza okufumbirwa abasajja abalala? Nedda, baana bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga Mukama nze yambonereza.”
14
Ne baddamu okutema emiranga n'okukaaba amaziga. Awo Orupa n'anywegera nnyazaala we okumusiibula. Naye Ruusi n'amwesibako.
15
Nawomi n'amugamba nti: “Ruusi, laba muggya wo azzeeyo mu bantu be, ne ku balubaale be. Naawe mugoberere.”
16
Kyokka Ruusi n'addamu nti: “Tonneegayirira kukuleka, era toŋŋaana kukugoberera, kubanga gy'onoogendanga, nange gye nnaagendanga. Abantu bo, be banaabanga abantu bange. Katonda wo, ye anaabanga Katonda wange.
17
Gy'olifiira, nange gye ndifiira, era gye balinziika. Mukama ambonereze n'obukambwe singa wabaawo ekinjawukanya naawe, okuggyako okufa.”
18
Nawomi bwe yalaba nga Ruusi amaliridde okugenda naye, n'atayongerako kirala.
19
Awo bombi ne batambula okutuuka e Betilehemu. Bwe baatuukayo, ekibuga kyonna ne kisasamala okubalaba. Abakazi baayo ne bagamba nti: “Ono ye Nawomi?”
20
Nawomi n'abagamba nti: “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mara, kubanga Mukama Omuyinzawaabyonna yandeetera okubonaabona ennyo.
21
Nava kuno nga nnina bingi, naye Mukama ankomezzaawo nga sirina kantu. Mumpitira ki Nawomi ng'ate Mukama Omuyinzawaabyonna yanneefuukira n'andabya ennaku?”
22
Bw'atyo Nawomi bwe yakomawo okuva mu nsi y'e Mowaabu, ng'ali wamu ne Ruusi Omumowaabu, mukaamwana we. Baatuuka e Betilehemu ng'amakungula ga bbaale gatandika.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4