bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ruth 4
Ruth 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
Awo Bowaazi n'ayambuka mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Olwo owooluganda lwa Elimeleki asinga okuba ow'okumpi, Bowaazi gwe yali ayogeddeko, n'ayitawo. Bowaazi n'amuyita nti: “Owange, kyama, otuuleko wano.” Oli n'akyama, n'atuula.
2
Awo Bowaazi n'afuna abasajja kkumi ku bakulembeze b'ekibuga, n'abasaba nabo batuuleko awo. Ne batuula.
3
Awo n'agamba owooluganda lwe nti: “Nawomi eyakomawo okuva mu nsi y'e Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Elimeleki.
4
Era ndowoozezza nga nteekwa okukikutegeezaako nti oba oyagala, kigulire mu maaso ga bano abatudde wano. Naye bw'oba nga toyagala kukinunula, yogera mmanye, kubanga ggwe olina obuyinza obusooka obw'okukinunula, nze ne nkuddirira.” Oli n'agamba nti: “Nja kukinunula.”
5
Bowaazi n'agamba nti: “Bw'onoogula ekibanja ku Nawomi, onooba oguliddemu ne Ruusi, nnamwandu Omumowaabu, ekibanja kiryoke kisigale mu mikono gy'ab'omu nnyumba y'omufu.”
6
Oli n'addamu nti: “Oba bwe guli, siyinza kukyenunulira, kubanga abaana abange tebalikisikira. Obuyinza mbulekedde ggwe, okinunule.”
7
Edda mu Yisirayeli, eno ye yali empisa ey'okununula n'okuwaanyisa: okukakasa endagaano, omuntu yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne. Obwo bwe bwabanga obujulirwa mu Bayisirayeli.
8
Awo owooluganda lwa Bowaazi bwe yamugamba nti: “Kyegulire”, n'anaanula engatto ye, n'agiwa Bowaazi.
9
Bowaazi n'agamba abakulembeze, n'abalala bonna abaaliwo nti: “Muli bajulirwa olwaleero, nga nguze ku Nawomi byonna ebyali ebya Elimeleki ne batabani be, Kiliyooni ne Maaloni.
10
Era Ruusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maaloni, mmuguze okuba mukazi wange, ebintu by'omufu oyo biryoke bisigale mu b'omu nnyumba ye, era ezzadde lye lireme kuzikirira mu baganda be ne mu kibuga kye. Mmwe bajulirwa leero.”
11
Abakulembeze n'abalala bonna ne bagamba nti: “Ffe bajulirwa. Omukazi azze mu nnyumba yo, Mukama amufuule nga Raakeeli ne Leeya, bombi abaazaalira Yisirayeli abaana. Naawe okulaakulane mu nnyumba ya Efuraati, oyatiikirire mu Betilehemu.
12
Ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuto, lifuule amaka go ng'aga Pereezi, Tamari gwe yazaalira Yuda.”
13
Awo Bowaazi n'atwala Ruusi, ne bafumbiriganwa. Mukama n'awa Ruusi omukisa, n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi.
14
Abakazi ne bagamba Nawomi nti: “Mukama yeebazibwe! Akuwadde omuzzukulu ow'obulenzi, anaakulabiriranga. Omulenzi ayatiikirire mu Yisirayeli!
15
Mukaamwana wo akwagala, era akukoledde ebirungi ebingi okusinga ebyo abaana omusanvu ab'obulenzi bye bandikukoledde, kaakano akuzaalidde omuzzukulu ow'obulenzi, alikuzzaamu obulamu, n'akulabirira mu bukadde bwo.”
16
Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amulera era n'amulabiriranga.
17
Abakazi ab'omuliraano ne batuuma omwana erinnya Obedi. Ne bagamba nti: “Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi.” Obedi oyo ye kitaawe wa Yesse, Yesse kitaawe wa Dawudi.
18
Lino lye zzadde lya Pereezi: Pereezi yazaala Hezirooni,
19
Hezirooni n'azaala Raamu, Raamu n'azaala Amminadabu,
20
Amminadabu n'azaala Naasoni, Naasoni n'azaala Salumooni,
21
Salumooni n'azaala Bowaazi, Bowaazi n'azaala Obedi,
22
Obedi n'azaala Yesse, Yesse n'azaala Dawudi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4