bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Ruth 3
Ruth 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
Awo Nawomi, n'agamba mukaamwana we Ruusi nti: “Mwana wange, nnina okulaba ng'ofuna amaka, weetongole.
2
Kale kaakano, nga bw'omanyi, tulina oluganda olw'okumpi ne Bowaazi, nnannyini bawala abaweereza b'obadde okola nabo. Kati nno wulira: olweggulo lwa leero, ajja okuwewa bbaale mu gguuliro.
3
Kale naaba, weesiige ebyobuwoowo, oyambale ebyambalo byo ebisinga obulungi, olyoke oserengete ku gguuliro, naye tomumanyisa nti w'oli, okutuusa ng'amaze okulya n'okunywa.
4
Wekkaanye ekifo w'anaagalamira. Bw'anaaba yeebase, ogende obikkule ku bigere bye, ogalamire awo. Olwo ye, anaakubuulira eky'okukola.”
5
Ruusi n'addamu nti: “Byonna by'oyogedde nnaabikola.”
6
Awo Ruusi n'aserengeta mu gguuliro, n'akola nga nnyazaala we bw'amugambye.
7
Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, n'aba musanyufu, n'agenda okugalamirako ku mabbali g'entuumu ya bbaale, ne yeebaka otulo. Ruusi n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bya Bowaazi, n'agalamira.
8
Ekiro mu ttumbi, Bowaazi n'awawamuka mu tulo ne yeekyusa, ne yeewuunya okusanga omukazi ng'agalamidde awo okumpi n'ebigere bye.
9
N'abuuza nti: “Ggwe ani?” Omukazi n'addamu nti: “Nze Ruusi, omuweereza wo. Ggwe wooluganda ow'okumpi ateekwa okundabirira. N'olwekyo nkusaba ontwale, obeerenga omukuumi wange.”
10
Bowaazi n'agamba nti: “Mukama akuwe omukisa mwana wange. Kino ky'okoze kaakano, kiragidde ddala obwesigwa bwo, n'okusinga ebyo bye wakolera nnyazaala wo. Kubanga wandisobodde okunoonyaayo abavubuka, abagagga oba abaavu.
11
Kale kaakano, teweeraliikirira Ruusi, nja kukukolera kyonna ky'osaba, kubanga abantu bange bonna mu kibuga, bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.
12
Kya mazima nga ndi waaluganda ow'okumpi, ateekwa okukulabirira. Naye waliwo omusajja owooluganda olw'okumpi okusinga nze.
13
Sula wano ekiro kino. Bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ng'anaakulabirira, oba nga taakulabirire. Bw'aba ng'anaakulabirira, kirungi. Bw'aba nga taakulabirire, ndayira Katonda omulamu nti nze neetegese okukulabirira. Kaakati sigala wano weebake okutuusa obudde okukya.”
14
Ruusi ne yeebaka kumpi n'ebigere bya Bowaazi okutuusa obudde okukya. N'agolokoka nga tebunnalaba bulungi muntu kwetegereza munne, kubanga Bowaazi teyayagala bantu bamanye ng'omukazi ono azze mu gguuliro.
15
Bowaazi n'amugamba nti: “Leeta ekyambalo kye weesuulidde, okyanjuluze.” Ruusi n'akyanjuluza. Bowaazi n'amuteerako kilo ng'amakumi abiri eza bbaale, n'azimutikka. Ruusi n'addayo mu kibuga.
16
Bwe yatuuka eka, nnyazaala we n'amubuuza nti: “Bigenze bitya, mwana wange?” Ruusi n'amubuulira byonna, Bowaazi by'amukoledde.
17
N'agamba nti: “Kilo zino ng'amakumi abiri eza bbaale, azimpadde ng'agamba nti: ‘Togenda eri nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
18
Nawomi n'amugamba nti: “Kaakano, tuula osirike, mwana wange, okutuusa lw'onoomanya bino gye binakkira, kubanga omusajja ono tajja kuwummula olwa leero okutuusa ng'amaze okutereeza ensonga eyo.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4