bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zephaniah 1
Zephaniah 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Buno bwe bubaka, Mukama bwe yawa Zefaniya, mu mirembe gya Yosiya, mutabani wa Amoni, era kabaka wa Buyudaaya. Zefaniya yali mutabani wa Kuusi, Kuusi mutabani wa Gedaliya, Gedaliya mutabani wa Amariya, Amariya mutabani wa Heezeekiya.
2
Mukama agamba nti: “Ndizikiriza ebintu byonna ku nsi,
3
abantu bonna n'ensolo, n'ebinyonyi n'ebyennyanja era ndisanyaawo aboonoonyi. Ndizikiriza abantu obutalekaawo n'omu. Nze Mukama nze njogedde.
4
“Ndibonereza ab'omu Buyudaaya, n'ab'omu Yerusaalemu bonna. Era ndizikiriza abasinza Baali, abakyasigaddewo mu kifo ekyo, waleme kubaawo wadde ajjukira bakabona be.
5
Ndizikiriza buli muntu alinnya waggulu ku nnyumba n'asinza enjuba n'omwezi era n'emmunyeenye. Ndizikiriza n'abo abasinza nze Mukama, ng'ate balayira lubaale Milukomu.
6
Ndizikiriza n'abo abanvuddeko, n'abatakyajja gye ndi wadde okunsaba okubayamba.”
7
Musirike awali Mukama Katonda, kubanga olunaku lw'alikolerako lusembedde. Mukama ateeseteese ekitambiro, atukuzizza abagenyi be.
8
Mukama agamba nti: “Ku lunaku olwo lwendittirako ekitambiro, ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka, n'abo bonna abeeyisa ng'abagwira.
9
Ndibonereza abo bonna abaziza okulinnya ku mwango gw'omulyango, era abajjuza ennyumba ya mukama waabwe eby'obukambwe n'obukumpanya.”
10
Mukama agamba nti: “Ku lunaku olwo walibaawo okukaaba ku Mulyango gw'Ebyennyanja ogw'omu Yerusaalemu, n'okutema emiranga mu kitundu ekiggya eky'ekibuga, n'okubwatuka okw'amaanyi okuva ku busozi.
11
Muteme emiranga mmwe ab'omu kitundu ekya wansinsi eky'ekibuga, kubanga abasuubuzi bonna bazikiridde!
12
“Awo mu kiseera ekyo ndikwata ettaala ne nfuuza Yerusaalemu. Ndibonereza abantu abali obulungi, abatalina kye beeraliikirira, era abagamba nti: ‘Mukama taliiko ky'akola, ka kibe kirungi oba ekibi.’
13
Obugagga bwabwe bulinyagibwa, n'ennyumba zaabwe zirifuuka matongo. Tebalisula mu mayumba ge bazimbye, wadde okunywa omwenge ogw'emizabbibu gye basimbye.”
14
Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi okutuuka. Lusembedde, era lwanguwa mangu. Olunaku lwa Mukama luliba lwa kubonaabona! N'omulwanyi omuzira alikaaba olw'obuyinike.
15
Luliba lunaku lwa busungu, lwa buyinike, na kubonaabona, lwa kuzikirira na kuggwaawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lwa bire n'enzikiza ekutte!
16
Luliba lunaku lwa kufuuwa ŋŋombe na kukuba nduulu ez'olutalo, nga balumba ebibuga ebiriko ebigo n'enkomera, n'eminaala emigulumivu.
17
Mukama agamba nti: “Ndireeta obuyinike obwo ku bantu, batambule nga bamuzibe, kubanga bakoze ebibi ebinnyiiza. Omusaayi gwabwe guliyiibwa ng'amazzi, n'emirambo gyabwe girisuulibwa ng'obusa.”
18
Ku lunaku olwo Mukama lw'aliragirako obusungu bwe, wadde ffeeza ne zaabu waabwe tebiriyinza kubawonya. Ensi yonna erizikirizibwa omuliro ogw'obusungu bwe, kubanga alisaanyaawo, alimalirawo ddala bonna abali ku nsi.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3