bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zephaniah 3
Zephaniah 3
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Yerusaalemu zikisanze ekibuga ekyo ekyonoonefu era ekijeemu, ekibonyaabonya abantu baakyo!
2
Tekyawuliriza n'omu era tekyakkiriza kubuulirirwa. Tekyesiga Mukama, era tekyeyuna eri Katonda waakyo.
3
Abakungu baamu bali ng'empologoma eziwuluguma, abalamuzi baamu bali ng'emisege egy'akawungeezi, egyayitirira amaddu obutafissaawo ggumba okutuusa enkeera!
4
Abalanzi baamu baggwaamu ensa, era ba nkwe. Bakabona baakyo boonoona ebitukuvu. Bafuulafuula amateeka ga Katonda, okufuna bye baagala.
5
Naye Mukama akyali mu kibuga ekyo akola ebituufu, era talikola bikyamu. Buli nkya, awatali kwosa, alaga nga bw'ali omwenkanya. Naye abantu ababi tebakwatibwa nsonyi, bongera kukola bibi!
6
Mukama agamba nti: “Nsaanyizzaawo amawanga, ebigo byago ebigumu bisigadde matongo. Nzisizza enguudo zaago, ne wataba aziyitamu. Ebibuga byago byabuliddwa, tewakyali babibeeramu.
7
Olwo ne ŋŋamba nti abantu bange bananzisaamu ekitiibwa, banakkiriza bye mbabuulirira, ennyumba zaabwe zireme kusaanawo olw'ebyo byonna bye nababonerezaamu. Naye beeyongera bweyongezi okukola ebikolwa ebibi!”
8
Mukama agamba nti: “Mugira munnindako okutuuka ku lunaku lwe ndisitukirako okutandika omuyiggo. Mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga n'obwakabaka, mbimalireko essungu n'ekiruyi. Omuliro gw'obuggya bwe mpulira, gulizikiriza ensi zonna.
9
“Mu biro ebyo ndikyusa emitima gy'abantu ab'omu mawanga, basinzenga nze nzekka, era bampeerezenga n'omutima gumu.
10
Abalinneegayirira be bantu bange abaasaasaana. Banaavanga emitala w'emigga egy'omu Etiyopiya ne bandeetera ebirabo.
11
Mu kiseera ekyo mmwe abantu bange temuliswazibwa olw'ebikolwa byammwe eby'okunjeemera, kubanga ndiggyawo mu mmwe abeekulumbaza era abeenyumiriza, ne mutaddamu kunjeemera ku lusozi lwange olutukuvu.
12
Mu mmwe ndirekamu abo abeetoowaze era abaavu, abananneesiganga nze Mukama.
13
Abayisirayeli abaliwonawo tebaakolenga bikyamu. Tebaalimbenga, era tebaayogerenga bya bukuusa. Banaabeeranga bulungi, era tewaliba abatiisa.”
14
Abayisirayeli, muyimbe musaakaanye! Ab'omu Yerusaalemu, musanyuke, mujaganye n'omutima gwammwe gwonna.
15
Mukama aggyeewo emisango gyammwe, agobye abalabe bammwe bonna. Mukama, Kabaka wa Yisirayeli ali wamu nammwe, tewakyali kibatiisa.
16
Ekiseera kijja kutuuka bagambe Yerusaalemu nti: “Totya, ggwe Siyooni! Emikono gyo gireme kuddirira!
17
Mukama, Katonda wo, ali wamu naawe, ye muzira akulwanirira n'owangula. Alikusanyukira nnyo, aliddamu okukulaga okwagala kwe, alikwaniriza ng'ayimba nga musanyufu,
18
ng'abali ku mbaga bwe basanyuka.” Mukama agamba nti: “Nzigyeewo akabi akandikutuuseeko, era nkuggyeeko obuswavu.
19
“Ekiseera kijja kutuuka mbonereze bonna abaakubonyaabonya. Ndiwonya abalema, ne nkuŋŋaanya abaasaasaanyizibwa. Okuswala kwabwe ndikufuula ekitiibwa, ensi zonna ne zibatendereza.
20
Ekiseera kijja kutuuka mbakuŋŋaanye mmwe, mbakomyewo ewammwe. Ndibafuula abamanyiddwa mu bantu bonna ku nsi, bwe ndibaddizaawo ebirungi nga mulaba.” Mukama ye ayogedde.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3