bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zephaniah 2
Zephaniah 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Mmwe ab'omu ggwanga eritalina nsonyi, mukuŋŋaane,
2
nga temunnasaasaanyizibwa ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga, era nga Mukama tannabasunguwalira nnyo, nga n'olunaku terunnatuuka lw'aliragirako ekiruyi.
3
Mudde eri Mukama mmwe mwenna abeetoowaze abali mu nsi, era abakola by'ayagala. Mukole ebituufu era mwetoowaze, oboolyawo muliwona ekibonerezo ku lunaku, Mukama lw'aliragirako obusungu bwe.
4
Gaaza kiryabulirwa, Asukelooni kirisigala matongo. Ab'omu Asudoodi baligobwamu mu ttuntu. Ne Ekurooni kirisaanyizibwawo. Amo 1:6-8; Zek 9:5-7
5
Zibasanze mmwe Abakereti, abali ku lubalama lw'ennyanja! Mukama akusalidde omusango ggwe Kanaani, ensi y'Abafilistiya: alikuzikiriza n'otosigalamu muntu!
6
Naawe olubalama lw'ennyanja, oliba malundiro omuli ensiisira z'abasumba, n'ebisibo by'embuzi n'endiga.
7
Ab'omu Buyudaaya abaliwonawo, be balibeera omwo balundirengamu, era basulenga mu mayumba ag'omu Asukelooni, kubanga Mukama Katonda waabwe alibeera wamu nabo, n'abaddizaawo ebirungi.
8
Mukama agamba nti: “Mpulidde ab'e Mowaabu n'ab'e Ammoni nga bavuma era nga bakudaalira abantu bange, era nga beewaana nga bwe bajja okunyaga ensi yaabwe. 21:28-32; 25:1-11; Amo 1:13-15
9
Kale nga bwe ndi omulamu, nze Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, ndayidde nti Mowaabu kiriba nga Sodoma, n'Abammoni baliba nga Gomora: ebifo omufuŋŋamye omwennyango, n'ebinnya omusimibwa omunnyo, era amatongo agataliggwaawo. Abantu bange abalisigalawo balinyaga ensi ezo. Bakaawonawo mu ggwanga lyange balizifuula zaabwe.”
10
Abantu b'e Mowaabu n'ab'e Ammoni bwe batyo bwe balibonerezebwa olw'okwekulumbaza kwabwe, n'olw'okuvuma abantu ba Mukama Nnannyinimagye
11
Mukama alibatiisa. Alitoowaza balubaale bonna ku nsi. Ab'amawanga gonna balimusinza, nga basinziira mu nsi zaabwe.
12
Nammwe ab'e Etiyopiya Mukama alibatta.
13
Mukama alikozesa obuyinza bwe n'azikiriza Assiriya. Ekibuga ky'e Nineeve alikifuula matongo, era kikalu ng'eddungu.
14
Kirifuuka ekifo omunaagalamiranga amagana, n'ebisolo byonna ebya buli ngeri. Ebiwuugulu binaasulanga mu bifulukwa byakyo, biwuugulirenga mu madirisa. Binnamuŋŋoona binaakaabiranga mu miryango. Emiti emyole egya keduro giriggyibwa ku bizimbe byakyo.
15
Ebyo bye birituuka ku kibuga ekyenyumirizanga olw'obuyinza bwakyo, ne kirowooza nti tekirituukibwako kabi. Kyewaananga nti: “Nze tewali annenkana!” Nga kirifuuka matongo, ekifo ebisolo we biwummulira! Buli ayitawo aneesoozanga n'afunya ebikonde, n'anyeenya emikono gye.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3