bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Peter 1
2 Peter 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Simoni Petero, omuweereza era Omutume wa Yezu Kristu. Y'abo abaafuna okukkiriza okwenkana n'okwaffe omuwendo, kwe twafunira mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi Yezu Kristu.
2
Eneema ebeere nammwe n'emirembe gyeyongere obungi nga bwe mweyongera mu kumanya Katonda ne Yezu Mukama waffe.
3
Amaanyi g'obwakatonda bwe gaatuwa byonna bye twetaaga mu bulamu ne mu kubeera abasomi, nga tumanyisibwa oyo eyatuyita mu kitiibwa kye kyennyini ne mu butuukirivu bwe,
4
mwe yatuweera ebisuubizo eby'ettendo era ebikulu. Olw'ebyo musobole okuwona obwonoonefu obuli mu nsi olw'amaddu, mugabane ku bwakatonda.
5
Olw'ensonga eyo mufube ku kukkiriza kwammwe mwongereko empisa ennungi, ku mpisa ennungi mwongereko okumanya,
6
ku kumanya mwongereko okwetangira, ku kwetangira mwongereko obusomi,
7
ku busomi mwongereko okuyisaŋŋanya ng'ab'oluganda, ku kuyisaŋŋanya ng'ab'oluganda mwongereko okwagala.
8
Ebyo byonna bwe munaaba mubifunidde ddala mu bungi, bijja kubawonya, okumanya kwe mumanyiimu Mukama waffe Yezu Kristu ne kutaba kwa busa oba obutabala bibala.
9
Oli atabirina, muzibe, alabira kumpi, yeerabidde nti ebibi bye yali akoze byamutukuzibwako.
10
Awo nno, abooluganda, mufube okuyitibwa kwammwe n'okulondebwa bibeere binywevu. Bwe mukola bwe mutyo, temuligwa mulundi n'ogumu.
11
Olwo muliweebwa mu bungi okuyingira mu bwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama era Mulokozi waffe Yezu Kristu.
12
Olw'ekyo neetegese okubajjukizanga ebyo bulijjo, newandibadde nga mubimanyi, n'okunywera munyweredde ku mazima ge mulina.
13
Nga nkyali mu kasiisira kano, ndowooza nga mulimu gwange okubabagulizangako nga mbajjukiza;
14
anti mmanyi ng'obw'okwabulira akasiisira kange bunaatera okutuuka nga Mukama waffe Yezu Kristu bwe yakindaga.
15
Kyokka nzija kufuba nga bwe nsobola okulaba nti bwe ndiba mmaze okugenda, ebyo munaabyejjukanyanga bulijjo.
16
Anti bwe twabamanyisa amaanyi ga Mukama waffe Yezu Kristu n'okujja kwe, tetwagoberera nfumo njiyirize, anti ffe ffennyini twalabira ddala ekitiibwa kye.
17
Anti bwe yafuna ettendo n'ekitiibwa okuva ewa Katonda Taata, yawulira eddoboozi eryamujjira nga liva ew'Ekitiibwa Ekitenkanika nga limugamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe neesiimiramu.”
18
Naffe eddoboozi lino eryava mu ggulu twaliwulira, kubanga twali wamu naye ku lusozi olutukuvu.
19
Kati tulina ekigambo abalanzi kye baagamba ekyongedde okukakasibwa. Munaaba mukoze bulungi okukifaako, ne kiba ng'omumuli ogwakira mu kizikiza okutuusa obudde lwe bunaakya emmunyeenye ey'oku makya n'evaayo mu mitima gyammwe.
20
Mu kusookera ddala, mwenna mutegeere nga tewali na kimu ekyalangwa mu Biwandiiko ebitukuvu omuntu ky'amala gannyonnyola nga bw'ayagala.
21
Anti tewabanga kirangwa kyava mu bantu ku bwabwe, wabula abantu ba Katonda abatuukirivu baayogeranga nga Mwoyo Mutuukirivu y'abasindise.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3