bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Peter 2
2 Peter 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Abalanzi ab'obulimba ne mu ggwanga baalingamu; ne mu mmwe mujja kubeerangamu abayigiriza ab'obulimba, abalireetamu endowooza ez'akabi, ne beegaana ne Nnyinibuyinza eyabagula, ne beereetera okuzikirira okw'amangu.
2
Bangi baligoberera eby'obugwenyufu, ne bavumaganya ekkubo ery'amazima.
3
Mu kululunkana kwabwe balisala gonna okubagula n'ebigambo byabwe eby'obulimba; kyokka omusango gwabwe gwabasinga dda, n'okuzikirira kwabwe tekwebase.
4
Ne bamalayika bwe baayonoona, Katonda teyabasonyiwa; yabasulinka wansi eyo mu magombe, n'abasiba eyo mu nzikiza, bakuumirwe eyo okutuusa ku kulamulibwa.
5
N'ensi ey'edda teyagisonyiwa; yatalizaako Nowa yekka, omuyigiriza w'obutuukirivu, n'abantu abalala musanvu, bwe yaleeta omujjuzi ku nsi y'abatatya Katonda.
6
Ebibuga Sodoma ne Gomorra yabifuula evvu, n'abisalira ogw'okusaanawo, bonna abatatya Katonda balyoke bategeererenga okwo.
7
Kyokka yawonyaawo Loti, omusajja omutuukirivu, eyali yeetamiddwa engeri ez'ekigwenyufu ez'abantu abo omutali mpisa.
8
Anti omusajja oyo omutuukirivu, bwe yali mu bo, yakabirirwa buli lunaku mu mwoyo gwe omulungi olw'ebikolwa byabwe ebibi bye yalabanga ne bye yawuliranga.
9
Abantu abasomi Katonda amanyi okubaggya mu bizibu, abatali batuukirivu bo amanyi okubalindiriza ekibonerezo okutuusa ku lunaku olw'okulamulibwa.
10
Naddala abo abagoberera amaddu g'omubiri agoonoona, era abatassa kitiibwa mu bakama baabwe. Abantu abo ba lunkulu, abatalina gwe bassaamu kitiibwa, tebatya na kuvuma bali ab'ekitiibwa.
11
Bamalayika basinga mu maanyi n'obuyinza, sso bo tebabawawaabira yadde okubavunaana ekigambo mu maaso g'Omukama.
12
Naye bano nno abamala gavuma ne buli kye batategeera ng'ensolo omutali magezi, bitondetonde bityo, abaazaalirwa okukwatibwa battibwe; balizikirira wamu nabyo nga bizikirira,
13
bagwe mu kabi nga ye mpeera y'akabi ke bakola. Bo bakiyita ssanyu okubinuka emisana; mabala mabi, ebizigiro; ne bwe babeera nga balya nammwe, baba mu kubinuka mu bulimba bwabwe.
14
Balina amaaso agajjudde obukaba; ekibi tebakikkuta; baseemyaseemya ab'emyoyo egitali minywevu. Emitima gyabwe gyakuguka mu kuluvuwala. Bantu bakolimire.
15
Baleka ekkubo eggolokofu ne bawaba. Bakutte ekkubo lya Balaamu mutabani wa Bewori eyayagala okufuna ng'akola ebibi.
16
Sso yakangavvulwa olw'ebisobyo bye; endogoyi etayogera yayogera mu ddoboozi ly'omuntu, n'ekoma ku ddalu ly'omulanzi.
17
Abo nzizi omutali tuzzi; kalenge kibuyaga gw'akuŋŋunsa, abaterekeddwa ekizikiza ekikunivu.
18
N'ebigambo byabwe omutali eby'okwewanika bakema abaakadduka ku abo abakyali mu nsobi, nga babaseemyaseemya n'amaddu ag'omubiri n'obugwenyufu.
19
Babasuubiza eddembe, sso nga bo obugwenyufu bubeefuze. Anti oli ekintu bwe kimuwangula, afuuka muddu waakyo.
20
Abo abadduka obwonoonefu bw'ensi oluvannyuma lw'okumanya Mukama waffe era Omulokozi Yezu Kristu, bumala bubazingako nate, ne bubawangula, embeera yaabwe ey'oluvannyuma efuuka mbi n'okukira eyasooka.
21
Ekyandibasingidde bwe butamanya kkubo lya butuukirivu, okusinga okumala okulitegeera ate ne bakuba enkyukira, ne baleka ekiragiro ekitukuvu ekyabakwasibwa.
22
Abo olugero luno lubatuukirako bulungi, nti: “Embwa edda ku by'esesemye,” era nti n'embizzi oluginaaza, edda mu kwevulunga mu bitoomi.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3