bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Peter 3
2 Peter 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Abaagalwa, eno ye bbaluwa eyookubiri gye mbawandiikidde; mu zombi ŋŋenderedde kukakamula birowoozo byammwe ebyesimbu nga mbajjukiza
2
nti mwandijjukidde ebyo ebyayogerwa edda abalanzi abatuukirivu, n'ebiragiro by'Omukama era Omulokozi Abatume bammwe bye baabawa.
3
Ekisookera ddala, mutegeere nga mu nnaku ez'oluvannyuma walijjayo abaduuze, abajjirira okuduula, abagoberera amaddu gaabwe gokka,
4
nga bagamba nti: “Bye yasuubiza nti ajja biruwa? Bajjajja kasooka bagalamira byonna bikyali nga bwe byali ku masooka g'okutondebwa.”
5
Mu bugenderevu beerabira nti eggulu lyabaawo dda Katonda lwe yayogera ekigambo, n'ensi n'ekolebwa n'amazzi ng'eggyibwa mu mazzi;
6
era nti ensi eyo eyaliwo yabikkibwa mu mujjuzi n'amazzi ago n'ezikirira.
7
N'ekigambo ekyo kyennyini, eggulu n'ensi ebiriwo kati byazzibwawo ne kibikuuma okutuusa lwe biryokebwa omuliro ku lunaku olw'okulamulibwa n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.
8
Abaagalwa, waliwo ekigambo kiikino kimu kye mutasaanye kwerabira, nti ew'Omukama olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu.
9
Omukama bw'asuubiza, talwa kutuukiriza ky'asuubizza, ng'abamu bwe bamuvunaana nti aludde. Wabula akyakwatiriddeko olw'okubeera mmwe nga tayagala wabeerewo bazikirira, wabula nti bonna batuuke ku kwenenya.
10
Lwo olunaku lw'Omukama lulijja ng'omubbi; olwo eggulu liriggwaawo mu kubwatuka, ebintu eggulu mwe lyakolebwa ne bisaanuuka mu muliro; ensi na byonna ebigiriko birisirikka.
11
Oba byonna bino biriseebengerera, mmwe abantu nga kibagwanidde okuyisa obulamu obutukuvu, obw'ekisomi,
12
nga mulinda mutyo era nga bwe mwanguyaako okutuuka kw'olunaku lw'Omukama, eggulu lwe liryaka ne liseebengerera ne bye lyakolwamu lwe birisaanuuka olw'omuliro.
13
Tulinda eggulu eriggya n'ensi empya omuli obutukuvu, nga bwe yatusuubiza.
14
Awo nno, abaagalwa, nga bwe mulinda ebyo, mufube abasange mu ddembe nga temuliiko bbala na musango.
15
Mukama waffe okugira ng'akyakwatiriddeko, mukitwale ng'omukisa gwammwe okulokoka. N'owooluganda omwagalwa Pawulo bw'atyo bwe yabawandiikira mu magezi ge yaweebwa,
16
ebyo n'abyogerako, era nga bw'abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mu bbaluwa ezo osangamu oluusi ebizibu okutegeera, abatali bayigirize n'abatali banywevu bye batabulatabula ne beereetera okuzikirira, nga bwe bakola Ebiwandiiko ebirala.
17
Awo nno, mmwe abaagalwa, mutegedde nga bukyali; mwerinde, muleme kutwalirizibwa bukyamu bw'abantu omutali mpisa ne muva awammwe we munyweredde.
18
Naye mweyongere mu neema ne mu kumanya Mukama waffe era Omulokozi Yezu Kristu. Aweebwe ekitiibwa, kaakano n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe egitaliggwaawo. Amiina.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3