bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Thessalonians 1
2 Thessalonians 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Pawulo, Siluvano ne Timotewo. Ya Ekleziya w'ab'e Tessalonika mu Katonda Kitaffe n'Omukama Yezu Kristu.
2
Eneema ebeere nammwe n'emirembe ebiva ewa Katonda Taata n'Omukama Yezu Kristu.
3
Abooluganda, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe; era nga kisaanye, kubanga okukkiriza kwammwe kugenda kukula, n'okwagalana kwammwe okwa buli omu eri munne kugenda kweyongera.
4
Olw'ekyo naffe ffennyini tubeenyumirizaamu mu Ekleziya za Katonda eyo yonna olw'obugumiikiriza bwammwe n'okukkiriza mu biyigganyizo byammwe byonna ne mu nnaku ze mugumiikiriza.
5
Kw'olabira ensala ya Katonda entuukirivu mw'ayagalira musaanire obwakabaka bwa Katonda obubalabisa nammwe ennaku kati.
6
Anti ekyo kituufu Katonda okukola, okusasuza n'okubonaabona abo abababonyaabonya,
7
ate mmwe ababonaabona kati n'abawa ekiwummulo wamu naffe luli Omukama Yezu lw'alyolekebwa ng'ava mu ggulu wamu ne bamalayika ab'obuyinza mu muliro ogubumbujja,
8
n'awa ekibonerezo abo abatamanyi Katonda n'abalala abagaana okugondera Evangili ya Mukama waffe Yezu.
9
Bagenda kuweebwa ekibonerezo eky'okuzikirira okw'emirembe gyonna, n'okugobebwa awali Omukama n'awali ekitiibwa ky'amaanyi ge,
10
bw'alijja ku lunaku lw'alijja okugulumizibwa mu batuukirivu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza, kubanga mwakkiriza bye twabategeeza.
11
Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize embeera gye yabayitira; olw'amaanyi ge abayambe mutuukirize buli kirungi kye mweteesa na buli bye mukola mu kukkiriza,
12
erinnya lya Mukama waffe Yezu ligulumizibwe mu mmwe, nammwe mutendebwe mu ye olw'eneema ya Katonda waffe n'Omukama Yezu Kristu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3