bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
2 Thessalonians 2
2 Thessalonians 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Abooluganda, tubeegayiridde, ku bidda ku kujja kwa Mukama waffe Yezu Kristu naffe okumukuŋŋaanirako,
2
muleke kutya mangu ago mu mitima na kubuguumirira olw'okulabikirwa omwoyo, oba ebigambo ebyogerwa, oba ebbaluwa gye bagamba mbu yava waffe, nga bigamba nti olunaku lw'Omukama lutuuse.
3
Baleme kubawubisa; kubanga lwo okutuuka walisookawo kwabulira ddiini n'okulabika kw'omubi, ow'okuzikirira,
4
awakanya era eyeepankira ku buli kyonna ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa; alyewaŋŋamya mu Kiggwa kya Katonda, ne yeeyita Katonda.
5
Temujjukira nti bwe nali nkyali ewammwe eyo, nabagamba bwe ntyo?
6
Mumanyi nti waliwo ekikyamuziyizza okutuusa lw'alyolekebwa mu kadde ke.
7
Obugwenyufu bwekisizza, naye bwatandika dda okukola; oyo akyakwatiridde ajja kukola atyo okutuusa lw'aliggyibwawo.
8
Omubi olwo alirabika, naye Omukama alimuzikiriza n'omukka gw'akamwa ke, n'amusaanyaawo n'okulabika kwe n'amajja ge.
9
Okujja kw'omubi kulirabika n'ebikolwa bya Sitaani eby'amaanyi ko n'obubonero n'ebyewuunyo ebigingeginge,
10
na buli kubuzaabuza kubi ku abo ab'okuzikirira kubanga bagaana okwagala amazima balyoke balokoke.
11
Katonda kyava abasindikira okubuzibwabuzibwa okw'amaanyi bakkirize ekitali kituufu,
12
olwo abo bonna balyoke basalirwe omusango abo abatakkiriza mazima, wabula abasanyukira mu butali butuukirivu.
13
Wamma bulijjo tuteekwa okwebaza Katonda ku lwammwe, abooluganda Omukama b'ayagala, kubanga Katonda yabalonda mu kusookera ddala mulokoke nga mutukuzibwa Mwoyo n'olw'okuba nga mwakkiriza amazima.
14
Mu Vangili yaffe mwe yabayitira ku kino, mulyoke mugabane ku kitiibwa kya Mukama waffe Yezu Kristu.
15
Kale nno abooluganda, mugume, munywerere ku kye tuzze tubawa, bye twabayigiriza n'akamwa oba mu bbaluwa yaffe.
16
Mukama waffe Yezu Kristu ne Katonda Kitaffe eyatwagala, mu neema ye eyatuleetera ekikubagizo ekitaggwaawo n'essuubi eddungi,
17
babagumye emitima, baginyweze mu buli ngeri ya mulimu mulungi na buli kigambo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3