bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Habakkuk 1
Habakkuk 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Obubaka Abakkuku bwe yafuna.
2
Ayi Mukama, nnaatuusa wa okuwanjaga onnyambe, naye ggwe nga towulira, oba okuleekaana gy'oli nti: “Obukambwe!” naye ggwe nga tolokola?
3
Lwaki ondeka okulaba ebikyamu, lwaki ogumiikiriza obugwenyufu? Okwonoona n'obukambwe bye ndaba, Empaka ze ziriwo, n'ennyombo zisituse.
4
Etteeka kyeriva liggwa amaanyi, n'obwenkanya tebuvaayo. Anti ababi babuutikidde abatuukirivu, obwenkanya bwe butyo ne butyoboolwa.
5
“Mutunuulire amawanga mulabe, mwewuunye, muwuniikirire. Kubanga nkola ekikolwa mu budde bwammwe kye mutandikkirizza nga kibanyumiziddwa.
6
Kuba ŋŋenda okusitula Abakaludeya, eggwanga eribuubuuka, ekkambwe, eriyita wonna ku nsi, litwale ebisulo ebitali byalyo.
7
Lya ntiisa, likuba encukwe, be beewa etteeka n'obuyinza.
8
Embalaasi zaabwe ziwenyuka okukira engo; bakambwe okukira emisege gy'ekiro; abeebagazi baabwe bajja buteesagga; abeebagazi baabwe bava bunaayira; babuuka ng'empungu ng'ekwakkula okulya.
9
Bonna bajjirira bukambwe; amaaso gaabwe gali ng'empewo ey'ebuvanjuba, bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.
10
Banyooma bakabaka, bakongoola abakungu, basekerera buli kigo; batuuma embibiro ne babikwata.
11
Bayitawo luwunguko nga mpewo ne beeyongerayo. Bazzi ba misango, amaanyi gaabwe ye lubaale waabwe.”
12
Kazzi, ayi Mukama, toli wa mirembe na mirembe, ayi Katonda wange, Omutuukirivu, atafa? Ayi Mukama, wabateekawo balamule; ayi Lwazi, wabassaawo babonereze.
13
Amaaso go matukuvu nnyo okugatunuza ku kibi, togumiikiriza kikyamu. Lwaki ate otunuulira ab'enkwe? Lwaki osirika ng'ababi bamira bugobo ababasinga obutuukirivu?
14
Abantu wabakola ng'ebyennyanja mu nnyanja, ng'ebyewalula ebitalina abikulira.
15
Bonna abasikayo n'eddobo, abakwasa mu kiragala kye, n'abakuŋŋaanya mu katimba ke; awo n'asanyuka n'asagambiza.
16
N'olw'ekyo atambirira ekiragala kye, n'anyookeza akatimba ke obubaani, kubanga mu byo mw'aggya obulamu obw'ekigagga, n'ekyokulya kye ekyassava.
17
Kyanaavanga afukumula akatimba ke bulijjo, n'azikiriza amawanga awatali kusaasira ennaku zonna?
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3