bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Habakkuk 2
Habakkuk 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Nzija kuyimirira we nkuumira, nzija kwesimba waggulu ku kigo, neetegereze ndabe ky'aŋŋamba ne ky'anaddamu okwemulugunya kwange.
2
Awo Omukama n'annyanukula: “Wandiika ky'olabye mu kulabikirwa, kirage bulungi ku kayinja, anaaba akisomye adduke nakyo.
3
Kubanga ky'olabye mu kulabikirwa kirinda kadde kaakyo; kyanguwa okutuuka ku nkomerero era tekiibe kya bulimba. Ne bwe kirinzalinza, ggwe kirinde; kwo okujja kijja kujja, tekiirwe.
4
Laba, atali wa mwoyo mutereevu aligwa, sso omutuukirivu aliba mulamu olw'okukkiriza kwe.”
5
Mazima, omwenge gwa nkwe; omwekuza atiiratiira buli kaseera. Oyo mu mululu mugazi ng'amagombe; tamatira ng'olumbe, yeekuŋŋaanyiza amawanga gonna, yeewundulira abantu bonna.
6
Bonna bano tebaasituke, ne bamukiina nga bayisa engero nti: “Zimusanze atuuma ebitali bibye, ne yeegaggawaza ng'atwala emisingo!” Kino anaakikola kutuusa wa?
7
Abakubanja tebaasituke nno mangu, tebaazuukuke ne bakukuba entengero? Olwo ojja kufuuka munyago gwabwe.
8
Kubanga wanyagulula amawanga nkumu, n'abantu bonna abasigaddewo balikunyagulula; kubanga wayiwa omusaayi gw'abantu, n'okola obulabe ku nsi n'ebibuga na bonna ababisulamu.
9
Zimusanze atuumira ennyumba ye obugagga obulyakule, awanike waggulu ekisu kye, yeewonye okutuukibwako akabenje.
10
Wateesa ebiswaza ennyumba yo, bwe watta abantu abangi, n'ossa obulamu bwo mu kabi.
11
Kubanga n'amayinja galiyima ku kisenge ne galeekaana, n'emikiikiro giriyima mu musekese ne gyanukula.
12
Zimusanze azimbira ekibuga ku kuyiwa omusaayi, n'akuba ekibuga ng'ayita mu kukola obubi.
13
Laba, ekyo tekivudde wa Mukama w'Amagye, nti abantu kye beekooyeza si kirala wabula muliro, nti n'amawanga gateganira bwereere?
14
Kubanga ensi egenda kujjula okumanya ekitiibwa kya Katonda, ng'amazzi bwe gajjuza ennyanja.
15
Zimusanze oyo awa mikwano gye ekyokunywa, n'abafukiramu obusungu bwe okutuusa nga batamidde, alyoke atunuulire obwereere bwabwe.
16
Mulijjula nsonyi sso si kitiibwa. Kati naawe nywa otagale! Ekikompe mu ddyo w'Omukama kijja kukutuukako, olwo ensonyi ziribikka ekitiibwa kyo.
17
Kubanga obukambwe bw'olaze Lebanoni bulikubuutikira, n'okuzikirira kw'ebisolo kulikutiisa. Kubanga oyiye omusaayi gw'abantu, okoze n'obulabe ku nsi n'ebibuga na bonna ababisulamu.
18
Ekifaananyi ekyole kigasa ki ng'omukozi waakyo akikoze, oba ekifaananyi ekisaanuuse eri omuyigisa w'obulimba? Lwaki akikola asuubirira mu ky'akoze, lwaki akola ebifaananyi bya balubaale ebitayinza kwogera?
19
Zimusanze oyo agamba ekiti nti: “Zuukuka!” n'ejjinja likasiru nti: “Vva mu tulo.” Lisobola okuyigiriza? Liiryo likwatiridde zaabu ne ffeeza, naye mu lyo temuli mukka gwa bulamu.
20
Ye Omukama ali mu Kiggwa kye ekitukuvu; ensi yonna esiriikirire mu maaso ge.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3