bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joel 2
Joel 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Mufuuwe eŋŋombe mu Siyoni, mukube enduulu ku lusozi lwange olutukuvu; bonna abasula mu nsi batekemuke kubanga olunaku lw'Omukama lujja, kubanga lusembedde:
2
olunaku olw'enzikiza ne kalenge, olunaku olw'ebire n'olufu; nga mmambya agenda abuna ku nsozi, eggye eddene ery'amaanyi lijja, ekiri ng'ekyo tekibangawo okuva edda n'edda, n'oluvannyuma lwakyo tekiribaawo mu mazadde n'amazadde.
3
Mu maaso gaalyo omuliro gugenda gusenkenya, emabega waalyo oluyiira lujja lwaka. Gye zigenda ensi eri ng'ennimiro y'e Edeni, naye gye ziva eri ng'eddungu evvunjage; mpaawo kiziwona.
4
Mu ndabika yaazo zifaanana embalaasi, ziguluka ng'eggye ly'abeebagazi.
5
N'okuyoogaana kw'ebigaali zigenda zibuuka entikko z'ensozi, ng'okutuliikirira kw'omuliro ogwokya essubi, ng'eggye ery'amaanyi eritaze okulwana.
6
Gye ziraga abantu bawooba, amaaso gonna gabapeeruuse.
7
Zirumba ng'abazira, ekigo zikiwalampa ng'abasajja abatabaazi; buli emu mu mugendo gwayo, teziwunjawunja.
8
Tezisindikagana, buli emu egoba kkubo lyayo. Ziwaguza mu busaale, teziyimirira.
9
Ziyiikira ekibuga, zisanjaala ku kisenge, zeefubitika amayumba nga ziyita mu madirisa ng'ababbi.
10
Mu maaso gaazo ensi ekankana, n'eggulu lijugumira, enjuba n'omwezi bifuuka nzikiza, n'emmunyeenye ne zikomya okwaka kwazo.
11
Omukama aduumira emabega w'eggye lye; eggye lye ddene nnyo; ba maanyi abatuukiriza by'agambye. Olunaku lw'Omukama lukulu, lwa ntiisa nnyo; ani alirugumira?
12
“Kaakati,” Omukama yagamba, “mukyukire gye ndi n'omutima gwammwe gwonna, nga musiiba, nga mukaaba n'okukuba ebiwoobe.”
13
Muyuze mitima gyammwe, si byambalo byammwe; mudde eri Omukama Katonda wammwe, kubanga musaasizi, ayagala, tasunguwala mangu, ajjudde ekisa, yeddamu n'atakola kabi.
14
Ani amanyi, oboolyawo yeddamu n'asonyiwa, n'aleka emabega omukisa gw'ebitone eby'obuwunga n'eby'okuyiwa olw'Omukama Katonda wammwe?
15
Mufuuwe eŋŋombe mu Siyoni, mulangirire ekisiibo; muyite olukuŋŋaana olw'ekitiibwa.
16
Mukunge abantu, mutukuze olukuŋŋaana, mukuŋŋaanye abakadde, muleete wamu abato abakyayonka; omusajja awasizza aveeyo gy'asula, n'omugole aleke ekisenge kye.
17
Bakabona, abaweereza b'Omukama, bawanjagire wakati w'ekisasi n'omwaliiro; bagambe nti: “Saasira abantu bo, ayi Mukama, obusika bwo tobuleka kusekererwa, kufuuka mboozi mu b'amawanga. Lwaki bandigambye eyo mu mawanga nti: ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
18
Olwo Omukama ensi ye egenda kumukwasa ensaalwa, asaasire abantu be.
19
Omukama alyanukula nti: “Nzija kubasindikira eŋŋano n'evviini n'omuzigo, okutuusa nga mukkuse; siriddayo kubafuula kya kusekererwa mu mawanga.
20
N'oyo ow'emambuka nzija kumubassa wala, nzija kumugobera mu nsi enkalu ey'eddungu, obwanga ng'abwolekezza ennyanja ey'ebuvanjuba, ekyensuti ng'akitunuulizza ennyanja ey'ebugwanjuba. Olusu lwe lulisituka, ekivundu kye kiryetikka.” Mazima akoze binene!
21
Ggwe nsi, leka kutya; sagambiza osanyuke. Mazima Omukama akoze binene!
22
Ebisolo eby'ettale, muleke kutya, kubanga amalundiro mu ddungu gasibuse; emiti gissizzaako ebibala byagyo, omukunyu n'omuzabbibu bireese obugagga bwagyo.
23
N'abantu ba Siyoni, musagambize, musanyukire mu Mukama Katonda wammwe, kubanga abawadde enkuba ya Ddumbi mu butuukirivu, atonnyesezza enkuba ku lwammwe, eya Ddumbi n'eya Ttoggo nga luli mu masooka.
24
Buli gguuliro lirijjula eŋŋano, n'amatogero ne gabooga evviini ensu n'omuzigo.
25
Nzija kubaddizaawo olw'emyaka gye zaamala nga zirya: enzige enkulu ne lusejjera, amayanzi n'obucaaka; eggye lyange eddene lye nabasindikira.
26
Muliba n'ebyokulya bingi ne mukkuta; mulitendereza erinnya ly'Omukama Katonda wammwe eyabakolera ebikulu; abantu bange tebaliddayo kuswazibwa n'akamu.
27
Mulitegeera nti ndi mu Yisirayeli, nti nze Mukama Katonda wammwe, era teriiyo mulala; abantu bange tebaliddayo kuswazibwa n'akamu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3