bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Joel 3
Joel 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
“Ebyo nga biwedde, ndiyiwa Mwoyo wange ku bantu bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliranga; abakadde bammwe baliroota ebirooto, n'abavubuka bammwe balirabikirwa.
2
N'abaddu bammwe n'abazaana bammwe mu nnaku ezo ndibayiwako Mwoyo wange.
3
Ndiraga ebikuuno ku ggulu ne ku nsi: omusaayi, omuliro n'empagi z'omukka.”
4
Enjuba erifuuka nzikiza, n'omwezi gulifuuka musaayi ng'olunaku lw'Omukama olukulu olw'entiisa terunnatuuka.
5
Buli alikoowoola erinnya ly'Omukama aliwonyezebwa; kubanga ku lusozi Siyoni kwe kuliba abanunuddwa, era ne mu Yeruzaalemu, ng'Omukama bwe yagamba, mu abo abawonyeewo mwe muliba Omukama b'ayita.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3