bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Malachi 1
Malachi 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Obubaka: Ekigambo ky'Omukama eri Yisirayeli ekyayita mu Malaki.
2
“Nabaagala, Omukama y'agamba, naye mmwe mubuuza nti ‘Watwagala otya?’ Ezawu teyali muganda wa Yakobo? Omukama y'agamba. Naye Yakobo namwagala,
3
kyokka Ezawu ne mmukyawa, n'ensozi ze nazireka matongo, n'obusika bwe ne mbufuula nfo ya bibe eby'omu ddungu.
4
Edomu bw'agamba nti: ‘Tukubiddwa, naye tunaakomawo ne tuzimba ebyazikirizibwa,’ naye ye Omukama w'Amagye kino ky'agamba: Baleke bazimbe naye nze nzija kumenyawo. Banaayitibwanga 'Nsi Mbi', 'Eggwanga Omukama ly'Asunguwalidde Emirembe gyonna'.
5
Mujja kukyerabirako ddala mmwennyini, mugambe nti: ‘Omukama mukulu n'emitala w'ensalo za Yisirayeli.’
6
“Omwana assaamu kitaawe ekitiibwa, n'omuweereza akissaamu mukama we. Oba nze kitammwe, ekitiibwa kyange kiruwa? Oba ndi mukama, obukulu bwange buluwa? Omukama w'Amagye y'agamba. Mmwe bakabona mmwe munyooma erinnya lyange. Naye mubuuza nti: ‘Erinnya lyo tulinyoomye tutya?’
7
Bwe muweereza ku mwaliiro gwange emmere ennyonoonefu. Era mubuuza nti: ‘Twakwonoona tutya?’ Bwe mugamba nti ‘Emmeeza y'Omukama enyoomebwa.’
8
Bwe muleeta ebisolo ebizibe by'amaaso bitambirwe, ekyo si kikyamu? Bwe muweereza ebisolo ebirema n'ebirwadde, ekyo si kikyamu? Mubiweereze owessaza wammwe mulabe! Anaabasiima? Anaabasanyukira? Omukama w'Amagye y'agamba.
9
‘Kale nno muwanjagire Katonda ow'ekisa atusaasire!’ N'ebyo ebitone ebifaanana bityo mu ngalo zammwe anaabaako n'omu mu mmwe gw'asanyukira? Omukama w'Amagye y'agamba.
10
Singa nno wabaawo omu mu mmwe n'aggala emiryango gy'Ekiggwa muleme kumala gakoleeza muliro ku mwaliiro gwange. Simunsanyusa, Omukama w'Amagye y'agamba, era sijja kukkiriza bitone biva mu ngalo zammwe.
11
Okuva enjuba lw'evaayo okutuusa lw'egwa erinnya lyange kkulu mu mawanga, ne mu buli kifo obubaani n'ebitone ebitukuvu biweerezebwa erinnya lyange, kubanga erinnya lyange kkulu mu mawanga, Omukama w'Amagye y'agamba.
12
“Naye mmwe mulyonoona nga mugamba nti: ‘Emmeeza y'Omukama nnyonoonefu, n'emmere yaakwo enyoomebwa.’
13
Ne mugamba nti: ‘Kuno kukabiriza!’ Ne mugyenyinyimbwa, Omukama w'Amagye y'agamba. Muddira ensolo ennyage, ennema n'endwadde ne muzireeta ng'ebitone. Nze nsiime ezo okuva mu ngalo zammwe? Omukama y'agamba.
14
Avumirirwe oyo omukumpanya, alina mu ggana lye ennume ekkirizibwa, eyeeyama okugiwa, naye n'atambiriramu Omukama eriko ebbala. Kubanga nze ndi kabaka mukulu, Omukama w'Amagye y'agamba, n'erinnya lyange lya ntiisa mu mawanga.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3