bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Malachi 3
Malachi 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
“Laba, ntuma omubaka wange ategeke ekkubo mu maaso gange; amangu ago Omukama gwe munoonya ajja kujja mu Kiggwa, omubaka ow'endagaano gwe mwesunga ajja kujja, Omukama w'Amagye y'agamba.
2
Naye ani aligumira olunaku lw'amatuuka ge? Bw'alirabika ani aliyimirirawo? Anti aliba ng'omuliro gw'omukenenuzi oba nga ssabbuuni w'omwozi.
3
Alituula ng'omukenenuzi oba ng'atukuza ffeeza, alitukuza bazzukulu ba Leevi, n'abasengejja nga zaabu ne ffeeza, balyoke baweereze Omukama ebitambiro mu butuukirivu.
4
Olwo ekitambiro kya Yuda ne Yeruzaalemu kirisanyusa Omukama nga mu nnaku ziri, nga mu myaka egy'edda.
5
Olwo ndisembera gye muli okubalamula. Ndiba mwangu okuwa obujulizi ku balogo, abenzi, abalayira obulimba, abalyazaamaanya empeera y'abapakasi, abanyigiriza bannamwandu ne bamulekwa, abatayisa mugwira na bwenkanya, n'abatantya, Omukama w'Amagye y'agamba.
6
“Nze Omukama, sifuuka; awo nno, mmwe abantu ba Yakobo, temunnasaanawo.
7
Okuviira ddala mu budde bwa bajjajjammwe mwava ku mateeka gange, ne mutagakwata. Mukomeewo gye ndi, nange nzija kukomawo gye muli, Omukama w'Amagye y'agamba. Naye mubuuza nti: ‘Tunaakomawo tutya?’
8
Omuntu asobola okulyakula Katonda? Naye mmwe mundyakula. Mubuuza nti: ‘Tukulyakula tutya?’ Mu kyekkumi ne mu bitone.
9
Muli bavumirire, mwenna eggwanga lyonna, kubanga mundyakula.
10
Ekyekkumi kyonna mukireete mu ggwanika mu nnyumba yange mubeeremu emmere. Mungeze mu kino, Omukama w'Amagye y'agamba, mulabe oba siibasumululire ebiyiriro by'eggulu mbayiire emikisa gibooge n'okubooga.
11
Ndibakomerako ku mukkavvuzi ne zitayonoona kibala kya ttaka, ne mu nnimiro emizabbibu gyammwe tegirikunkumuka, Omukama w'Amagye y'agamba.
12
Olwo amawanga gonna galibeesiimisa, kubanga mulibeera nsi ejjudde ebisanyusa, Omukama w'Amagye y'agamba.
13
“Munjogeddeko ebigambo ebizito, Omukama y'agamba.
14
Ate mubuuza nti: ‘Biki bye tukwogeddeko?’ Anti mwagamba nti: ‘Okuweereza Katonda temuli kantu! Mugaso ki gwe tuggya mu kukwata by'akuutira ne mu kukunkuna ng'abakungubaga mu maaso g'Omukama?
15
Kati twesiimisa abeekuza; abakozi b'obubi bibagendera bulungi, ate ne bwe bageza Katonda tebabaako kantu.’ ”
16
Awo abatya Omukama ne boogeraganya, Omukama n'ategereza, n'awulira; ekitabo eky'ekijjukizo ne kiwandiikibwa mu maaso ge ku abo abatya Omukama n'abalowooza ku linnya lye.
17
“Baliba bange, Omukama w'Amagye y'agamba, ekkula lyange, ku lunaku lwe ndikola. Ndibasaasira ng'omusajja bw'asaasira mutabani we amuweereza.
18
Olwo muliddamu okulaba enjawulo wakati w'omutuukirivu n'omubi, ne wakati w'aweereza Katonda n'atamuweereza.
19
“Olunaku lwo lujja kujja; lulyaka ng'akabiga; bonna abeekuza n'abakozi b'obubi baliba ng'essubi; olunaku olujja lulibakoleeza omuliro, Omukama w'Amagye y'agamba, tebalirekerwa yadde kikolo yadde ettabi.
20
Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba y'obutuukirivu eribaviirayo n'okuvumula mu biwaawaatiro byayo; mulifuluma ne muligita ng'obuyana obuyimbuddwa mu kisibo.
21
Mulirinnyirira ababi; balifuuka ng'evvu ku mala g'ebigere byammwe, mu lunaku lwe ndikola, Omukama w'Amagye y'agamba.
22
“Mujjukire etteeka lya Musa omuweereza wange, lye nalagira ku Korebu ng'ebiragiro n'ennamula ku Yisirayeli yenna.
23
“Mulabe, nzija kubatumira Eliya omulanzi ng'olunaku lw'Omukama olukulu olw'entiisa terunnatuuka.
24
Alizza emitima gy'abazadde abasajja eri abaana baabwe, n'emitima gy'abaana eri bakitaabwe, nneme kujja ensi ngisalire okuzikirizibwa.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3