bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Malachi 2
Malachi 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
“Kaakati nno kino ekiragiro kyammwe, bakabona.
2
Bwe mutawulira, bwe mutassa mutima ku kuwa kitiibwa linnya lyange, Omukama w'Amagye y'agamba, nzija kubasindikira ekikolimo, n'emikisa gyammwe nzija kugivumirira; n'okugivumirira nagivumirira dda, kubanga temulissaako mutima.
3
Mulabe eno: nzija kukoma ku bitone byammwe, mmette amaaso gammwe n'obusa, obusa bw'ebitone byammwe, mbaggye mu maaso gange.
4
Olwo mulimanya nti mbawadde ekiragiro ekyo, endagaano yange ne Leevi esigalewo, Omukama w'Amagye y'agamba.
5
Endagaano yange yali naye, endagaano y'obulamu n'eddembe; ebyo nabimuwa alyoke anziseemu ekitiibwa. Yampa ekitiibwa n'erinnya lyange n'alitya.
6
Etteeka ery'amazima lyamuli mu kamwa era tewali bugwenyufu bwasangibwa ku mimwa gye; yatambulanga nange mu ddembe ne mu butuufu, bangi yabaggya mu bugwenyufu.
7
Kubanga emimwa gya kabona gyandikuumye okumanya, n'etteeka abantu bandirinoonyerezza mu kamwe ke, kubanga ye mubaka w'Omukama w'Amagye.
8
Naye mmwe muvudde mu kkubo, muleetedde bangi okwesittala n'etteeka lyammwe; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'agamba Omukama w'amagye.
9
Nange kyennava mbafuula ekitagasa ne mbatoowaza mu maaso g'abantu bonna, kubanga temwakwata makubo gange, ne mwekubiira mu ngeri gye mwakwatamu etteeka.”
10
Ffenna kitaffe si ye omu? Katonda si ye omu eyatutonda? Lwaki tumenya endagaano ya bajjajjaffe nga buli omu amenya obwesigwa eri munne?
11
Yuda tabadde mwesigwa; ekyenyinyalwa kyakolebwa mu Yisirayeli ne mu Yeruzaalemu, kubanga Yuda yayonoona Ekiggwa ky'Omukama ky'ayagala, bwe yawasa muwala wa lubaale omugwira.
12
Omukama akutule ku weema za Yakobo ne ku abo abaweereza ebitone Omukama w'Amagye buli muntu yenna awa obujulizi obusemba oyo akoze kino.
13
Na kino mukikola: Omwaliiro gw'Omukama mugujjuzizza amaziga; mukaaba ne mukuba ebiwoobe kubanga takyafaayo ku bitambiro byammwe, yadde okubikkiriza n'essanyu okuva mu ngalo zammwe.
14
Mubuuza nti: “Lwaki?” Kubanga Omukama ye yali omujulirwa wakati wo ne mukazi wo ow'obuvubuka bwo, naye gw'otaalaga bwesigwa, sso nga ye munno, ye mukazi wo ow'endagaano.
15
Teyakola omubiri gumu n'aguwa n'omwoyo gwagwo? Omu oyo anoonya ki? Ezzadde okuva ewa Katonda. Kale nno weekuume; leka kumenya bwesigwa na mukazi ow'obuvubuka bwo.
16
“Nkyayira ddala abafumbo okwawukana, Omukama Katonda wa Yisirayeli y'agamba, n'omuntu okubikka ekyambalo kye n'obukambwe, Omukama w'Amagye y'agamba.” Kale nno weekuume oleme kumenya bwesigwa.
17
Omukama mumukooyezza n'ebigambo byammwe. Mubuuza nti: “Tumukooyezza tutya?” Bwe mugamba nti: “Bonna abakola ekibi balungi mu maaso g'Omukama, era naye abasanyukira,” oba nti: “Katonda alamuza obwenkanya aluwa?”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3