bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Nahum 3
Nahum 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Zikusanze ggwe ekibuga eky'omusaayi, ekijjudde obulimba, ekijjudde obunyazi, eky'okwaya okutaliiko kkomo.
2
Okwesooza kw'obuswanyu, okugolongotana kwa nnamuziga, embalaasi eziguluka n'okupaapiira kw'ebigaali.
3
Abeebagazi abatala, ebitala ebimyamyansa, amafumu agatemagana! Obuvune bungi n'entuumu z'abafudde; emirambo okutali kkomo, bagenda beesittala ku mirambo!
4
Byonna ebyo lwa bwenzi obuyitirivu obw'obwamalaaya, mulungi, asikiriza, naye ow'eddogo ekkambwe, eyazingako amawanga n'obwamalaaya bwe, n'ebika by'abantu n'eddogo lye.
5
“Nkuli bukiika,” Omukama w'Amagye y'agamba, “ndisitulira emivuluya gyo ku maaso go, ndeke amawanga geerolere obwereere bwo, n'obwakabaka mbulage ensonyi zo.
6
Nzija kukukasukira ebijama, nkuyise na bunyoomi, ofuuke eky'okwerolera.
7
Buli alikulaba alikudduka, n'agamba nti: ‘Nineve azikiridde! Ani anaamukaabira? Mmunoonyeze wa anaamukubagiza?’ ”
8
Ggwe mulungi okukira No-Amoni, atudde ku Kiyira, amazzi nga gamwebunguludde, bbugwe we nga ye nnyanja, n'amazzi nga kye kisenge kye?
9
Kuusi ne Misiri be baali amaanyi ge, agataliiko kkomo; Puti ne Libya be bamu ku baali banywanyi be.
10
Kyokka naye yagenda mu busibe, yatwalibwa mu buwaŋŋanguse. Amabujje ge baagaseseggulira mu buli masaŋŋanzira. Abakungu be baabakubako akalulu, n'abaami be bonna baasibibwa ku mpingu.
11
Naawe nno ojja kutamiira; olyekweka, olinoonya obwewogomo okudduka omulabe.
12
Ebigo byo byonna biri nga mikunyu, okuli ebibala ebisooka okutuuka, oluginyeenyaako ne bigwa mu kamwa k'abirya.
13
Tunuulira eggye lyo, bonna bakazi! Emiryango gy'ensi yo gyonna miggulire abalabe bo; omuliro gusenkenyezza emiyingo gyayo.
14
Weekimire amazzi olw'okuzindibwa, nyweza ebigo byo; kkirira mu ttosi, samba ebbumba, kwata akatiba.
15
Eyo omuliro gulikusenkenyezaayo, ekitala kirikutemerayo, kirikuvunjaga ng'enzige. Yala ng'enzige! Yala ng'enseenene!
16
Wayongera obungi bwa b'osuubulagana nabo n'obasinza n'emmunyeenye ez'eggulu. Enzige zanjuluza ebiwaawaatiro byazo ne zibuuka.
17
Abakuumi bo bali ng'enseenene, abakungu bo bali ng'ebikuukuulu by'enzige, ezigwa ku lukomera ku lunaku olunnyogovu, enjuba bw'evaayo, ne zibuuka; tewali amanyi gye ziraga.
18
Kabaka wa Assuri, abasumba bo beebase, abaami bo bagandadde. Abantu bo babunye emiwabo ku nsozi, tewali abakuŋŋaanya.
19
Obuvune bwo tebuliiko kuddirira, ekiwundu kyo kya maanyi. Buli awulira ebikufaako, akuba mu ngalo ku ggwe; ggwe ate ani atatuukibwangako bukambwe bwo obutaliiko kigero?
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3