bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Titus 1
Titus 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Pawulo, omuweereza wa Katonda, era Omutume wa Yezu Kristu, olw'okutuusa abalonde b'Omukama ku kukkiriza ne ku kumanya amazima agatuusa ku butuukirivu,
2
olw'okusuubira obulamu obutaggwaawo Katonda oyo atalimba bwe yasuubiza okuva edda n'edda,
3
ate akadde bwe kaatuuka, n'amanyisa ekigambo kye nga kirangirirwa, omulimu gwennyini ogwankwasibwa mu kiragiro ekyava ewa Katonda Mulokozi waffe.
4
Ya Tito, mutabani wange olw'okukkiriza okutugatta awamu; eneema, okusaasira, n'emirembe okuva ewa Katonda Taata n'Omukama Kristu Yezu Mulokozi waffe.
5
Eno ye nsonga eyakundesa mu Kureti nti otereeze ebyali bisigalidde, olondere abakadde mu buli kibuga, nga bwe nali nkulagidde.
6
Bw'abaawo, abeere omuntu ataliiko kimuvunaanibwa, nga wa mukazi omu, ng'alina abaana abakkiriza, abataliiko musango gwa busaasaanyi oba ogw'obutawulira.
7
Ate ye omulabirizi, asaanye abeere nga taliiko musango ng'omuweereza wa Katonda, nga si wa lunkulu, tasunguwala mangu, si mutamiivu, si mukambwe, talulunkanira kufuna,
8
wabula ng'ayaniriza abagenyi, ayagala ekirungi, mwegendereza, muntumulamu, musomi, amanyi okwefuga,
9
anywerera ddala ku kigambo eky'amazima nga bwe kyayigirizibwa, alyoke asobole okugumya abalala n'enjigiriza ennamu n'okukkirizisa abo abagiwakanya.
10
Bangi kati ab'eddalu, aboogera omutali nsa, abalimba, naddala abava mu batayirire.
11
Bateekwa okusirisibwa, kubanga batabangudde amaka mangi nga bayigiriza ebintu bye batandiyigirizza olw'okugoba amagoba omutali.
12
N'omu ku bo, ate omulanzi waabwe, yajulira nti: “Abakureti bulijjo balimba, bisolo bigwagwa, ngajaba zikaliira.”
13
Kye yajulira kino kya mazima; awo nno bakangavvule babe balamu mu kukkiriza,
14
ne batadda mu kuwuliriza nfumo za Kiyudaaya na biragiro bya bantu abaava ku mazima.
15
Ku balongoofu byonna biba birongoofu, naye ku abo aboonoonefu, abatakkiriza, teri kitukuvu, anti nga n'emitima gyabwe n'emmeeme zaabwe byayonooneka.
16
Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bye bakola byennyini mwe bamwegaanira; abo beenyinyalwa, si bawulize, abatagwanidde kintu kirungi na kimu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3