bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Titus 2
Titus 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Ggwe nno yigiriza ebyo ebituukana n'enjigiriza ennamu.
2
Kubirizanga abasajja abakulu babe bantu abamanyi okwefuga, ab'ekitiibwa, abantubalamu, abalamu mu kukkiriza, mu kwagala ne mu bugumiikiriza.
3
Era bw'otyo ne ku bakazi abakulu, babe ba kitiibwa mu neeyisa yaabwe, abatasala bigambo, nga si bafugwa mwenge, wabula abayigiriza ekirungi;
4
olwo basobole okuyigiriza abakazi abakyali abato okwagala babbaabwe n'okwagala abaana baabwe;
5
babe abantubalamu, abatukuvu, abakozi b'emirimu awaka, ab'ekisa, abagondera babbaabwe, ekigambo kya Katonda kireme kwogerwako bubi.
6
Era bw'otyo bw'oba okubiriza n'abasajja abakyali abato okumanya okwefuga.
7
Mu byonna beera ekyokulabirako eky'ebikolwa ebirungi. Ng'oyigiriza beera ow'ebirowoozo ebiruŋŋamu era ebigumu,
8
ow'ebigambo ebiramu ebitasobola kuvunaanibwa; olwo abo abakuwakanya baswale olw'obutaba na kibi kye bayinza kutwogerako.
9
Abaddu bakubirize okugonderanga bakama baabwe, nga bagezaako okubasanyusa mu buli kintu, nga tebabaanukula,
10
abateetoolatoola, wabula balage obwesigwa obulungi obwa namaddala, balyoke mu buli ngeri baweese enjigiriza ya Katonda Mulokozi waffe ekifaananyi ekirungi.
11
Anti eneema ya Katonda yalabika ereetere abantu bonna okulokoka.
12
Etuyigiriza okwegaana buli kikaafiiri n'amaddu g'ensi, tubeere abamanyi okwefuga, ab'empisa, abatuukirivu era abasomi mu nsi eno,
13
nga bwe tulinda essuubi ery'omukisa n'okulabika kwa Katonda waffe omukulu era Omulokozi Kristu Yezu,
14
eyeewaayo olw'okubeera ffe alyoke atununule mu buli bubi bwonna, ate yeetukulize abantu ababe ku bubwe, abatakabanira okukola ekirungi.
15
Bino nno by'oba oyogera; kubiriza, komako n'obuyinza bwonna. Wabulewo n'omu akunyooma.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3