bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Titus 3
Titus 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Bajjukize okugondera abaami n'abali mu buyinza, okuba abawulize, abeetegefu okukola buli kirungi,
2
nga tebawaayiriza, tebayombayomba, bateefu, ab'eggonjebwa eri buli muntu.
3
Olumu naffe twali basiru, nga tetuwulira, nga tuwubisiddwa, nga tufuuse baddu ba bika ebitali bimu ebya maddu n'amasanyu; mu bulamu bwaffe nga tuli ba kitimatima na buggya; nga tukyayiddwa ate naffe nga tukyawaganye;
4
naye ekisa n'okwagala kwa Katonda Mukama waffe bwe byalabika,
5
n'atulokola, si lwa kubeera bikolwa byaffe bye twali tukoze eby'obutuukirivu, naye lwa kubeera kisa kye, ng'ayita mu kunaazibwa okw'okuzaalibwa ogwokubiri n'okuzzibwa obuggya mu Mwoyo Mutuukirivu,
6
gwe yatuyiira mu bungi ng'ayita mu Yezu Kristu Mulokozi waffe;
7
eneema ye ng'emaze okutufuula abatuukirivu, tulyoke tufuuke basika abalina essuubi ery'obulamu obutaggwaawo.
8
Ekyogerwa kino kya mazima. Njagala bino obikkaatirize, abo abakkirizza Katonda bafeeyo ku kukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era biyamba abantu.
9
Naye weewale endasano ez'ekisiru, n'okunonooza endyo, okuyomba n'okukaayana ku Tteeka, kubanga bino tebiganyula era temuli kantu.
10
Omuntu aleeta enjawukana ng'omaze okumulabula ogusooka n'ogwokubiri, mulekere ddala.
11
Manya nti ow'engeri eyo mukyamu era mwonoonyi, yeesalidde yekka omusango.
12
Nga mmaze okukusindikira Aritema oba Tukiko, sala gonna onsisinkane e Nikopoli, kubanga nsazeewo obudde obw'obutiti okubumala eyo.
13
Fuba nnyo okuyamba Zena munnamateeka ne Apollo mu lugendo lwabwe, era laba nga tebajula kantu.
14
Abantu baffe balina okuyiga okukola emirimo emirungi, basobole okudduukirira mu bwetaavu obwa mangu, baleme kubeera ntagasa.
15
Bonna be ndi nabo eno bakutumidde. Ndabira abo abatwagala mu kukkiriza. Eneema ebeere nammwe mwenna.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3