bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zephaniah 1
Zephaniah 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Zefaniya mutabani wa Kuusi, mutabani wa Gedaliya, mutabani wa Amariya, mutabani wa Kezekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni kabaka wa Yuda.
2
“Nzija kwerawo buli kintu okuva ku nsi,” Omukama y'agamba,
3
“nzija kwerawo abantu n'ebisolo; nzija kwerawo ebinyonyi eby'omu bbanga n'ebyennyanja mu nnyanja. Ababi ndibazikiriza; nzija kusaanyaawo abantu bonna wonna ku nsi,” Omukama y'agamba.
4
“Omukono gwange nzija kugugololera ku Yuda ne ku bonna abasula mu Yeruzaalemu; mu kifo kino nzija kukutulako buli baasigalawo aba Baali, n'amannya g'emmandwa ne bakabona be,
5
n'abo abayima ku busolya ne basinza eggye ly'eggulu, n'abo abasinza ne balayira Omukama, n'abo abalayira Milukomu,
6
n'abo abaakuba Omukama amabega; n'abatanoonya Mukama, n'abo abatamwebuuzaako.
7
Musirike awali Omukama Katonda, kubanga olunaku lw'Omukama luli kumpi; Omukama ategese ekitambiro, atukuzizza b'ayise.
8
“Ku lunaku lw'Omukama olw'ekitambiro ky'Omukama, nzija kubonereza abafuzi, ne batabani ba kabaka, ne bonna abambadde ebyambalo ebigwira.
9
Ku olwo nzija kubonereza ababuuka omwango, abajjuzizza ekiggwa kya mukama waabwe n'obukambwe n'enkwe.
10
“Ku olwo,” y'agamba Omukama, “enduulu eriwulirwa ku Mulyango gw'Ebyennyanja, ebiwoobe okuva mu Kibuga Ekiggya, n'okubwatuka okunene okuva mu busozi.
11
Mukube ebiwoobe, mmwe abasula mu Kiwonvu, kubanga abasuubuzi bonna baweddewo, bonna abasuubula ffeeza bazaaye.
12
Ku olwo Yeruzaalemu ndimunoonya n'ettawaaza, ndibonereza abasajja abagejjedde ku bisejja by'omwenge gwabwe, abalowooza mu mitima gyabwe nti: ‘Omukama talina ky'anaakola, kirungi oba kibi.’
13
Ebyabwe birinyagululwa, n'ennyumba zaabwe balizaaya; balizimba amayumba, naye tebaligasulamu; balisimba emizabbibu, naye tebaliginywako mwenge.”
14
Olunaku lw'Omukama olukulu luli kumpi, luli kumpi, ate lujja mangu. Eddoboozi ly'olunaku lw'Omukama nga kkaawu, omutabaazi aleekaanira eyo.
15
Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike na nnaku, lunaku lwa kuzikirira na kufa, lunaku lwa lufu na kazigizigi, lunaku lwa bire na kalenge.
16
Lunaku lwa ŋŋombe na nduulu ku bibuga ebiriko bbugwe, ne ku minaala waggulu ku nsonda.
17
Ndirabya abantu ennaku, balitambula nga bamuzibe, kubanga baakola ekibi eri Omukama. Omusaayi gwabwe guliyiika ng'enfuufu, n'ebyenda byabwe ng'obusa.
18
Ne ffeeza waabwe ne zaabu tebirisobola kubawonya, ku lunaku lw'obusungu bw'Omukama; mu muliro gw'ebbuba lye ensi yonna eriwemmentebwa, kubanga ajja kumalirawo ddala, ate mbagirawo, bonna abasula ku nsi.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3