bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zephaniah 3
Zephaniah 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Zikusanze, ggwe omujeemu, omwonoonefu, ekibuga ekirumbaganyi!
2
Tekiwuliriza ayogera, tekikkiriza kukomwako. Tekyesiga Mukama, tekisembera eri Katonda waakyo.
3
Abaami baakyo, mpologoma eziwuluguma, abafuzi baakyo, misege gya kiro, ku magumba ezitaterekako ka ku makya.
4
Abalanzi baakyo bantu batyo, bantu balimba; bakabona baakyo bajaajaamya Ekitukuvu, bamenya etteeka.
5
Sso Omukama ali mu kyo mutuukirivu, takola bitali bya butuukirivu; ku makya buli lunaku awa ennamula ye, bulijjo ku maliiri talemererwa; naye omubi tafa ku kuswala.
6
“Nkutaddeko amawanga, ebigo byabwe byamenyebwawo. Enguudo zaabwe nazireka ttayo, nga temukyali ayitamu; ebibuga byabwe matongo, temukyali muntu, mpaawo n'omu bw'ati asulamu.
7
Ne ŋŋamba nti: ‘Kati banantya, ne bakkiriza okukomwako. Olwo byonna bye mbagambye tebiibave ku maaso.’ Kyokka beeyongera kwagala kukola ebikolwa byabwe byonna ebibi.
8
“Olw'ekyo, nnindirira”, Omukama y'agamba, “olunaku lwe nnaasituka okuwa obujulizi. Kubanga ntegese okukuŋŋaanya amawanga, okuleeta awamu obwakabaka, ndyoke mbamalireko obuswandi bwange, obusungu bwange obwesera, anti ensi yonna erisenkenyezebwa omuliro gw'ebbuba ly'obusungu bwange.
9
“Olwo nditukuza emimwa gy'amawanga, bonna balyoke bakoowoole erinnya ly'Omukama, bamuweereze ng'omuntu omu.
10
Okuva emitala w'emigga gya Kuusi, abeegayirizi bange, abantu bange abaabuna emiwabo, balindeetera ebitone.
11
“Ku olwo temuliwulira nsonyi olw'ebisobyo byonna bye mwakola, kubanga ndibaggyamu abajaganyiza mu lunkulu lwabwe. Toliddayo kwekuliza ku lusozi lwange olutukuvu.
12
Naye ndikulekamu abaavu n'abanaku; abo balisuubira mu linnya ly'Omukama.
13
Abaasigalawo mu Yisirayeli tebalikola bubi, tebalyogera bya bulimba, ne mu kamwa kaabwe temulisangibwamu lulimi lukuusa. Balirya ne bagalamira, tewaliba abakanga.”
14
Yimba, wattu muwala wa Siyoni, Yisirayeli, leekaana. Sanyuka, sagambiza n'omutima gwonna, ayi muwala wa Yeruzaalemu.
15
Omukama aggyeewo ekibonerezo kyo, abalabe bo abazzizzaayo emabega; Omukama, Kabaka wa Yisirayeli, ali mu makkati go, tokyaddayo kubeera na kabi k'otya.
16
Ku olwo Yeruzaalemu balimugamba nti: “Wattu Siyoni, leka kutya; emikono gyo togireka kulagaya.
17
Omukama Katonda wo ali mu makkati go, omuzira alokola; alijaguza ku lulwo n'essanyu, alikuzza buggya n'okwagala kwe, alisanyuka ku lulwo mu nnyimba,
18
nga ku mbaga enkulu. “Nzija kukuggyako ennaku, nga tokyaddayo kunyoomebwa olw'okubeera yo.
19
Mu budde obwo ndikola ku bonna abaakulabya ennaku, ŋŋenda kuwonya omulema, ndikuŋŋaanya abaagobwa; ndibawa ettendo n'ekitiibwa mu buli nsi gye baali baswalidde.
20
Mu budde obwo ndibakomyawo eka; mu budde obwo ndibakuŋŋaanya. Ndibawa ettendo n'okugulumizibwa mu mawanga gonna ag'ensi, bwe ndikomyawo abasibe bammwe mu maaso gammwe,” Omukama y'agamba.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3