bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Zephaniah 2
Zephaniah 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Mwekuŋŋaanye, mwekuŋŋaanye, mmwe eggwanga eritaswala,
2
nga temunnagoberwa eri ng'ebisusunku ebikuŋŋunsibwa, ng'obusungu bw'Omukama obwesera tebunnabajjira, ng'olunaku lw'obusungu bw'Omukama terunnabajjira.
3
Mwenna abateefu ab'omu nsi, munoonye Omukama, mmwe abakola ky'alagira. Munoonye obutuukirivu, munoonye obwetoowaze; oboolyawo mulifuna we mwewogoma ku lunaku lw'obusungu bw'Omukama.
4
Kubanga Gaza alyabulirwa, ne Asukeloni kirirekebwa ttayo; Asudodi balimuleka mukalu mu ttuntu; Ekuroni kirisimbulwawo.
5
Zibasanze mmwe abasula ku lubalama lw'ennyanja, mmwe eggwanga ly'Abakereti! Ekigambo ky'Omukama kiri ku mmwe, mmwe Kanaani ensi y'Abafilisitiini nti: “Nzija kukuzikiriza okutuusa nga tewasigadde akusulamu.”
6
Ggwe olubalama lw'ennyanja, olifuuka malundiro, bisaawe bya balunzi na bisibo bya ndiga.
7
Olubalama lulifuuka lwa baasigalawo mu nnyumba ya Yuda; eyo gye balisanga amalundiro. Akawungeezi baligalamiranga mu nnyumba z'omu Asukeloni; Omukama Katonda waabwe agenda kubalabirira; alikomyawo abasibe baabwe.
8
“Nawulira okujolonga kwa Mowabu, n'okuvuma kw'Abammoni, abaavuma abantu bange ne beewaanira ku nsi yaabwe.
9
Kale nno, mazima nze nga ndi mulamu,” Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, y'agamba: “Mowabu aliba nga Sodoma, n'Abammoni nga Gomorra; ensi ey'omwennyango n'entuumu z'omusenyu, ey'eddungu emirembe gyonna. Abaasigalawo mu bantu bange baliginyagulula; abaasigalira mu bantu bange balibezza.
10
Ekyo kye kiribatuukirira olw'okwekuza kwabwe, kubanga baavuma n'okwewaanira ku bantu b'Omukama w'Amagye.
11
Omukama alibabeerera ntiisa, kubanga alitoowaza balubaale bonna ab'ensi; balimusinza buli omu mu kifo kye, byonna ebizinga by'amawanga.
12
“Nammwe Abakuusi, mulittibwa n'ekitala kyange.”
13
Aligololera omukono gwe ku mambuka n'azikiriza Assuri; Nineve alikireka matongo, nga kikalu ng'eddungu.
14
Amagana galigalamira omwo mu kyo, na buli kisolo kyonna; ekiwuugulu eky'amatu ne nnamunnungu birisulanga ku mpagi zaakyo, ekiwuugulu kiriwulugumiranga mu ddirisa, ne nnamuŋŋoona alikaabiranga mu mulyango, kubanga enzizi z'entolookyo ziribikkulibwa.
15
Ky'ekyo ekibuga eky'amasanyu, ekyetuuliranga entende, ekyerowoozangako nti: “Nze ndiwo, era teri mulala.” Laba bwe kifuuse amatongo, enfo y'ebisolo! Buli ayitawo afuuwa kiwa, n'akuba mu ngalo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3