bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Thessalonians 2
1 Thessalonians 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Kubanga mmwe mwennyini ab'oluganda, mumanyi ng'okukyala kwaffe gye muli tekwali kwa bwereere.
2
Newakubadde nga twali tumaze okubonaabona n'okugirirwa ekyejo mu Firipi, nga bwe mumanyi, twagumira mu Katonda waffe okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kuwakanyizibwa okungi.
3
Kubanga okubuulirira kwaffe si kwa bulimba, so si kwa bugwagwa, so tekukolebwa mu bukuusa;
4
naye nga bwe twasaanyizibwa Katonda okuteresebwa enjiri, bwe twogera bwe tutyo, si ng'abaagala okusiimibwa abantu, wabula Katonda akema emitima gyaffe.
5
Kubanga tetukozesanga wadde bigambo bya kubawaanawaana, nga bwe mumanyi, oba okukisa okwegomba kwaffe, Katonda ye mujulirwa.
6
Tetunoonyanga kitiibwa okuva eri abantu, oba mmwe, wadde okuva eri abalala, newakubadde twandiyinzizza okukibasaba ng'abatume ba Kristo.
7
Naye twali bawombeefu mu mmwe, nga maama bw'alabirira abaana be.
8
Olw'okubalumirwa omwoyo bwe tutyo, twetegeka okugabana nammwe si njiri ya Katonda yokka, naye era n'emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo.
9
Kubanga mujjukira, ab'oluganda, okufuba kwaffe n'okutegana, bwe twakolanga emirimu emisana n'ekiro, obutazitoowereranga muntu yenna ku mmwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda.
10
Mmwe bajulirwa era ne Katonda, bwe twabanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awatali kya kunenyezebwa mu mpisa zaffe eri mmwe abakkiriza.
11
Mumanyi nga taata bwaba n'abaana be, naffe bwe twali nammwe, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tubakubiriza,
12
mulyoke mutambulenga nga bwe kisaanira Katonda abayita okuyingira mu bwakabaka bwe ne mu kitiibwa kye.
13
Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwafuna ekigambo kya Katonda, kye mwawulira okuva gyetuli, mwakikkiriza si ng'ekigambo ekya bantu, naye nga ddala kiri ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza.
14
Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwafaanana ekkanisa za Katonda Kristo Yesu eziri mu Buyudaaya, kubanga nammwe mwabonyaabonyezebwa bwe mutyo ab'eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya;
15
abatta Mukama waffe Yesu ne bannabbi, era naffe abaatugoba, ne banyiiza Katonda, era balabe b'abantu bonna.
16
Era baatuziyiza okubuulira ab'amawanga balyoke balokoke; bwe batyo ne bongera ku bibi byabwe eby'edda, naye obusungu bwa Katonda bubatuuseeko ku nkomerero.
17
Naye ffe, ab'oluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono, mu maaso si mu mutima, tweyongera nnyo okufuba okubalaba mu maaso gammwe n'okubalumirwa ennyo omwoyo,
18
kubanga twayagala okujja gye muli, nze Pawulo omulundi ogwolubereberye era n'ogwokubiri; naye Setaani n'atuziyiza.
19
Kubanga essuubi lyaffe, oba essanyu lyaffe, oba ngule ki ey'okwenyumiriza kwaffe mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe? Si ye mmwe?
20
Kubanga mmwe kitiibwa kyaffe n'essanyu lyaffe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5