bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Thessalonians 3
1 Thessalonians 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Bwe tutaayinza kwongera kugumiikiriza, kyetwava tulowooza okulekebwa fekka emabega mu Asene.
2
Era ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubagumya mu kukkiriza kwammwe;
3
omuntu yenna aleme okusagaasagana olw'okubonaabona kuno; kubanga mwekka mumanyi ng'ekyo kye twateekerwawo.
4
Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi.
5
Olw'ensonga eno, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, kyennava ntuma, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe bwe kuli, nga ntya nti mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere.
6
Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gyetuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe;
7
olw'ekyo ab'oluganda, mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna, tuzibwamu nnyo amaanyi olw'okukkiriza kwammwe.
8
Kubanga kaakano tuli balamu, mmwe bwe muyimirira nga muli banywevu mu Mukama waffe.
9
Kubanga kwebaza ki kwe tuyinza okusasula Katonda ku lwammwe, olw'essanyu lyonna lye tusanyuka ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe;
10
emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gammwe, n'okutuukiriza ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe?
11
Naye Katonda yennyini era Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli.
12
Nammwe Mukama waffe abongerengako era abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka, n'okwagalanga abantu bonna, era nga naffe bwe tubaagala mmwe.
13
Alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kya kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5