bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Thessalonians 4
1 Thessalonians 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Eky'enkomerero, ab'oluganda, tubeegayirira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwatuyigirako bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula, mweyongerenga bwe mutyo.
2
Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabawa ku bwa Mukama waffe Yesu.
3
Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi;
4
buli muntu ku mmwe ateekwa okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa.
5
Temufugibwanga mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda.
6
Omuntu yenna alemenga okwonoona muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo, kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okubategeereza ddala.
7
Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula kubeera mu butukuvu.
8
Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu.
9
Naye ebikwata ku by'okwagalanga ab'oluganda, temwetaaga muntu yenna kubawandiikira, kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.
10
Kubanga ddala mwagala ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira;
11
era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira.
12
Mulyoke mubenga n'ekitiibwa eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga.
13
Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.
14
Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alikomyawo bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.
15
Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.
16
Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda, n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira.
17
Naffe abaliba bakyali abalamu ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
18
Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5