bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Timothy 1
1 Timothy 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
1
Pawulo, omutume wa Kristo Yesu ng'okulagira kwa Katonda Omulokozi waffe bwe kuli n'okwa Kristo Yesu essuubi lyaffe;
2
eri Timoseewo omwana wange ddala olw'okukkiriza. Ekisa, okusaasira, n'emirembe bibenga gy'oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe.
3
Nga bwe nnakubuulirira okubeera mu Efeso, bwe nnali nga ŋŋenda e Makedoni, olagirenga abamu obutayigirizanga bulala,
4
newakubadde okulowoozanga enfumo n'ebigambo eby'obuzaale ebitakoma, ebireeta empaka mu kifo ky'okuyigiriza kw'obwa Katonda okuli mu kukkiriza.
5
Ekigendererwa ky'ekiragiro kyaffe kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu n'omwoyo omulungi n'okukkiriza okutalina bukuusa.
6
Ebyo abantu abamu babiwunjukamu ne bakyamira mu bigambo ebitaliimu;
7
nga baagala okuba ng'abayigiriza b'amateeka, nga tebategeera bye boogera newakubadde bye bakakasa.
8
Naye tumanyi ng'amateeka malungi, omuntu bw'agakozesa mu butuufu bw'ago,
9
ng'atutegeera kino nti, amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibi, abatali batukuvu n'abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b'abantu,
10
abenzi, abalya ebisiyaga, abanyazi b'abantu, abalimba, abalayirira obwereere, n'ebirala byonna ebiwakana n'okuyigiriza okw'obulamu,
11
ng'Enjiri bw'eri ey'ekitiibwa kya Katonda eyeebazibwa gye nnateresebwa.
12
Mmwebaza oyo eyampa amaanyi, ye Kristo Yesu Mukama waffe, kubanga yandowooza nga ndi mwesigwa, bwe yanteeka mu buweereza,
13
olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow'ekyejo; naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza.
14
Ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo gyendi wamu n'okukkiriza n'okwagala okuli mu Kristo Yesu.
15
Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubereberye.
16
Naye kyennava nsaasirwanti mu nze asinga obubi mu boonoonyi, Yesu Kristo mwayinza okulabisiza okugumiikiriza kwe kwonna, okunaabeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw'obulamu obutaggwaawo.
17
Era Kabaka ow'emirembe n'emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga ettendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
18
Ekiragiro kino nkikuteresa, mwana wange Timoseewo, ng'ebigambo bya bannabbi bwe byali bye baakwogerako edda, olyoke olwanirenga mu byo olutalo olulungi,
19
ng'onyweza okukkiriza n'omwoyo omulungi, abalala gwe basindika eri ne bamenyekerwa okukkiriza kwabwe.
20
Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda, be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6