bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Timothy 6
1 Timothy 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
1
Abali mu kikoligo ky'obuddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa.
2
Abo abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abagasibwa mu kuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga.
3
Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, era nga takkiriza bigambo bya bulamu, ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugoberera okutya Katonda;
4
nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambizi empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, n'okuwayiriza,
5
awamu n'okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abaggibwako amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda kwe kufuna amagoba.
6
Naye okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga ge magoba amangi,
7
kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, era tetuyinza kuggyamu kintu.
8
Naye bwe tuba n'emmere n'eby'okwambala, ebyo binaatumalanga.
9
Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira.
10
Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna; waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi.
11
Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo, ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuwombeefu.
12
Lwananga okulwana okulungi okw'okukkiriza, nywezanga obulamu obutaggwaawo, bwe wayitirwa, n'oyatula okwatula okulungi mu maaso g'abajulirwa abangi.
13
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato;
14
weekuumenga ekiragiro awatali bbala, awatali kya kunenyezebwa, okutuusa ku kulabika kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
15
Kuno kuliragibwa mu ntuuko zaakwo Nannyini buyinza yekka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami;
16
alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba, aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
17
Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo;
18
bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu.
19
Olwo banaabanga beeterekera eky'okunsinzirako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala.
20
Ayi Timoseewo, kuumanga kye wateresebwa, nga weewala ebigambo ebitaliimu ebitali bya Katonda n'okuwakana kw'ebigambo bye beerimba nti magezi.
21
Waliwo abantu abeegamba okuba nakwo, ne bakyama mu kukkiriza. Ekisa kibeerenga nammwe.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
All chapters:
1
2
3
4
5
6