bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
1 Timothy 3
1 Timothy 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
1
Kyesigwa ekigambo ekyo nti, Omuntu bw'ayagalanga obulabirizi, yeegomba mulimu mulungi.
2
Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, ayigiriza;
3
si mutamiivu, si mukambwe; naye omuwombeefu, si muyombi era atalulunkanira nsimbi;
4
afuga obulungi ennyumba ye ye, akuuma abaana be nga bawulize, era nga balina ekitiibwa.
5
Kubanga omuntu bw'atamanya kufuga nnyumba ye ye, ayinza atya okulabirira ekkanisa ya Katonda?
6
Tasaana kuba oyo eyaakakyuka, alemenga okwekulumbaza si kulwa nga agwa mu musango gwa Setaani.
7
Era nate kimugwanira okubeeranga n'okutegeezebwa okulungi eri abo ab'ebweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani.
8
Bwe batyo n'abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatafugibwa mwenge, abatalulunkanira bintu olw'amagoba;
9
nga bakuuma ekyama eky'okukkiriza mu mwoyo omulungi.
10
Era nate abo basookenga okugezesebwa, balyoke baweereze, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
11
Bwe batyo n'abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, abeesigwa mu byonna.
12
Abaweereza babeerenga basajja ba mukazi omu, nga bafuga abaana baabwe obulungi n'ennyumba zaabwe bo.
13
Kubanga abamala okuweereza obulungi beefunira obukulu obulungi n'obugumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
14
Nkuwandiikidde ebyo nga nsuubira okujja gy'oli mangu;
15
naye bwe ndwanga olyoke obe ng'omanyi bwe kigwana okukolanga mu nnyumba ya Katonda, ye kkanisa ya Katonda omulamu, empagi n'omusingi eby'amazima.
16
Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'akkirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6