bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Peter 1
2 Peter 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Simooni Peetero, omuddu era omutume wa Yesu Kristo, eri abo abaafuna okukkiriza okw'omuwendo omungi nga ffe bwe twakufuna mu butuukirivu bwa Katonda waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
2
ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera ddala Katonda ne Yesu Mukama waffe.
3
Kubanga obuyinza bw'obwakatonda bwe bwatuwa byonna eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera ddala oyo eyatuyita olw'ekitiibwa n'obulungi bwe ye.
4
Mu byo mweyatuweera ebisuubizo ebinene era eby'omuwendo omungi ennyo; olw'ebyo mulyoke muwone okuzikirira okuli mu nsi okuleetebwa okwegomba okubi, mulyoke mugabane ku bwa Katonda bwe.
5
Olw'ensonga eno mufube okulaba nga, ku kukkiriza kwammwe mwongerako obulungi, era ne ku bulungi bwammwe mwongerako okutegeera;
6
era ne ku kutegeera kwammwe mwongerako okwegendereza; era ne ku kwegendereza kwammwe mwongerako okugumiikiriza; era ne ku kugumiikiriza kwammwe mwongerako okutya Katonda;
7
era ne ku kutya kwammwe Katonda mwongerako okwagala ab'oluganda; era ne ku kwagala ab'oluganda kwammwe mwongerako okwagala.
8
Kubanga bwe muba n'ebyo ne biba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'ababala ebibala olw'okutegeerera ddala Mukama waffe Yesu Kristo.
9
Kubanga ataba n'ebyo ye muzibe w'amaaso awunawuna, bwe yeerabira okunaazibwako ebibi bye eby'edda.
10
Kale, ab'oluganda, kyemunaavanga mweyongera obweyongezi okufubanga okunyweza okuyitibwa kwammwe n'okulondebwa, kubanga ebyo bwe munaabikolanga, temulyesittala n'akatono.
11
Bwe mutyo mulyoke muyingizibwe mu bugagga obw'obwakabaka obutaggwaawo obwa Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.
12
Kyenaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo newakubadde nga mubimanyi ne munywerera mu mazima ge mulina.
13
Era ndowooza nga kya nsonga, nga nkyali mu mubiri guno, okubakubirizanga nga mbajjukiza;
14
nga mmanyi nga nnaatera okuva mu mubiri guno, era nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yantegeeza.
15
Kyenva nfuba ennyo okulaba nga ne bwendiba nga maze okufa, nga ebyo byonna musobola okubijjukira.
16
Kubanga tetwagoberera ngero ezaagunjibwa n'amagezi bwe twabategeeza obuyinza n'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo, naye twalaba n'amaaso gaffe obukulu bwe.
17
Kubanga yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n'ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy'ali bwe liti nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo.”
18
Twawulira eddoboozi lino ery'ava mu ggulu, kubanga twali awamu naye ku lusozi olutukuvu.
19
Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola bulungi okukiraba ekyo, ng'ettabaaza eyakira mu kifo eky'ekizikiza, okutuusa obudde bwe bulikya emmunyeenye ekeesa obudde n'eyaka mu mitima gyammwe.
20
Okusookera ddala mutegeere kino, nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekyajja nga kisinziira ku kunnyonnyola kwa nnabbi oyo.
21
Kubanga tewali kigambo kya bunnabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu, naye abantu baayogeranga ebyavanga eri Katonda, nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3