bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Peter 3
2 Peter 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Abaagalwa, kaakano eno ye bbaluwa eyokubiri gye mbawandiikira; mu ezo zombi mbakubiriza n'okubajjukiza amagezi gammwe gabeere agataliimu bukuusa;
2
okujjukiranga ebigambo ebyayogerwa edda bannabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume bammwe ekya Mukama waffe era Omulokozi.
3
Okusookera ddala, musaana okutegeera kino, nga mu nnaku ez'oluvannyuma abasekerezi balijja n'okusekerera, nga batambula okugobereranga okwegomba kwabwe bo
4
ne boogera nti, “Okusuubiza kw'okujja kwe kuli luuyi wa? Kubanga, bajjajjaffe kasookedde beebaka, byonna bibeera bwe bityo nga bwe byabanga okuva ku kutondebwa.”
5
Kubanga bagenderera okwerabira kino nga olw'ekigambo kya Katonda, eggulu lyaliwo dda, era n'ensi n'etondebwa okuva mu mazzi era n'ebeera wakati mu mazzi.
6
Amazzi gano, ensi eyo ey'edda ge gagisaanyaawo n'ezikirira.
7
Naye olw'ekigambo ekyo kye kimu eggulu n'ensi ebiriwo kaakano biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.
8
Naye kino kimu temukyerabiranga, abaagalwa, nga eri Mukama waffe olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi (1,000), n'emyaka olukumi (1,000) giri ng'olunaku olumu.
9
Mukama waffe talwisa kye yasuubiza, ng'abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke ku kwenenya.
10
Naye olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirikka.
11
Ebyo byonna oba bigenda okusaanuuka bwe bityo, mugwanidde kubeeranga mutya? Musaana okubeera mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda,
12
nga mulindirira era nga mwegomba nnyo olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisa eggulu nga lyokebwa, n'ebintu ebiririko ne biseebengerera olw'ebbugumu eringi!
13
Naye nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.
14
Kale, abaagalwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga temulina bbala newakubadde omusango mu maaso ge.
15
Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira.
16
Ebyo abyogerako mu bbaluwa ze zonna. Mulimu ebintu ebimu mu zo; ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga bwe bakola n'ebyawandiikibwa ebirala, ekireeta okuzikirira kwabwe bo.
17
Kale, abaagalwa, kubanga musoose okutegeera, mwekuumenga muleme okugwa okuva mu bunywevu bwammwe mmwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababi.
18
Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo aweebwenga ekitiibwa kaakano era n'okutuusa ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3