bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Peter 2
2 Peter 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Naye era ne wabaawo ne bannabbi ab'obulimba mu ggwanga, era nga ne mu mmwe bwe waliba abayigiriza ab'obulimba, abaliyingiza mu nkiso obukyamu obuzikiriza, era nga beegaana ne Mukama waabwe eyabagula, nga beereetera okuzikirira okw'amangu.
2
Era bangi abaligoberera obukaba bwabwe; balivumisa ekkubo ery'amazima.
3
Era olw'omululu balibafunamu amagoba nga bakozesa ebigambo ebyagunjibwa, omusango gw'abo okuva edda tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekubongoota.
4
Kuba oba nga Katonda teyasonyiwa bamalayika bwe baayonoona, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obunnya obw'ekizikiza, okubategekera omusango;
5
era n'atasonyiwa nsi ey'edda, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, ne banne omusanvu bokka, bwe yaleeta amataba ku nsi ey'abatatya Katonda.
6
Yasirissa ebibuga Sodomu ne Ggomola n'abisalira omusango ng'abizikiriza n'okubifuula ekyokulabirako eri abo abatalitya Katonda;
7
era n'alokola Lutti omutuukirivu, bwe yali nga yeeraliikirira nnyo olw'empisa ez'obukaba ez'ababi.
8
Kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo bulijjo bulijjo yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu.
9
Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusa ku lunaku olw'omusango;
10
naye okusinga bonna abatambula okugoberera omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyavu, tebatya kuvuma ba kitiibwa,
11
naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n'obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri Mukama waffe.
12
Naye abo, baliba ng'ensolo ezitalina magezi ezizaalibwa ensolo obusolo ez'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, balizikirizibwa mu kuzikirira kwe kumu ng'ensolo ezo,
13
nga babonaabona olw'okwonoona kwabwe. Balowooza ebinyumu by'emisana nga lye ssanyu lyabwe. Balina amabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga zaabwe ez'okwagalana nga balya embaga awamu nammwe.
14
Balina amaaso agajjudde obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omutima ogwamanyiira okwegomba; abaana ab'okukolimirwa!
15
Baleka ekkubo eggolokofu ne bakyama, nga bagoberera ekkubo lya Balamu omwana wa Beyoli, eyayagala empeera ey'obutali butuukirivu;
16
naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe ye, endogoyi eteyogera bwe yayogera n'eddoboozi ly'omuntu yaziyiza eddalu lya nnabbi.
17
Abo ze nzizi ezitaliimu mazzi, era lwe lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa ekizikiza ekikutte zigizigi.
18
Kubanga, bwe boogera ebigambo ebikulu ennyo ebitaliimu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okudduka abatambulira mu bukyamu.
19
Babasuubiza okuweebwa eddembe, nga bo bennyini baddu ba kuzikirira; kubanga ekyo ekiwangula omuntu abeera muddu waakyo.
20
Kuba bwe bamala okudduka okuva mu bugwagwa bw'ensi olw'okutegeerera ddala Mukama waffe era Omulokozi Yesu Kristo, naye ate ne beegombeza mu bwo omulundi ogwokubiri ne bawangulibwa, eby'oluvannyuma byabwe bisinga obubi eby'olubereberye.
21
Kubanga kyandibadde kirungi gyebali singa tebaategeera kkubo lya butuukirivu, okusinga, bwe bamala okulitegeera, ate ne badda emabega okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweebwa.
22
Kibatuuseeko ng'olugero olw'amazima bwe luli nti, “Embwa eddidde ebisesemye byayo, n'embizzi enaazibbwa ezzeemu okwekulukuunya mu bitosi.”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3