bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Habakkuk 1
Habakkuk 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Omugugu nnabbi Kaabakuuku gwe yalaba.
2
Ayi Mukama, ndituusa wa okukaaba naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira nti, “obukambwe!” Naye ggwe tokkiriza kutulokola.
3
Lwaki ondeka okulaba ebikyamu, era n'okutunulira emitawaana? Okuzikiriza n'obukambwe biri mu maaso gange; era waliwo empaka, n'okuyomba.
4
Amateeka kyegavudde gaddirira, ne wataba kugoba mazima n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu; kwe kulaba nga n'amazima ganyooleddwa.
5
Mutunule mu mawanga, mulabe; mwewuunye era mutye, kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa.
6
Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri ne batambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, nga banyaga ebintu by'abalala n'okutwala ennyumba ezitali zaabwe.
7
Ba ntiisa, bazibu, amazima gaabwe n'ekitiibwa biva mu bo bennyini.
8
Embalaasi zaabwe zisinga engo embiro, era nkambwe okusinga emisege egy'ekiro, n'abasajja baabwe abeebagala embalaasi beeyagala, weewaawo, abasajja baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'empungu eyanguyira eky'okulya.
9
Bonna bajja lwa bukambwe; entiisa yaabwe ebakulemberamu; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.
10
Weewaawo, basekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gyebali; baasekerera buli kigo, kubanga batuuma enfuufu ne bakimenya.
11
Awo bayita nga bawulukuka ng'embuyaga era ne bagenda, abasajja abasingiddwa omusango, amaanyi gaabwe ye katonda waabwe.
12
Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ayi Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama, wamuteekerawo musango, naawe ayi Olwazi wamunywereza kubuulirira.
13
Ggwe alina amaaso amalongoofu ennyo agatayinza kutunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi ng'amira omuntu amusinga obutuukirivu?
14
Kubanga abantu obafuula ng'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga.
15
Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye; kyava asanyuka n'ajaguza.
16
Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye ngagga.
17
Kale alibeera buli kiseera nga afukumula omuya gwe, era awatali kusaasira n'atta amawanga emirembe gyonna?
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3