bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Habakkuk 2
Habakkuk 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Nditwala oluwalo lwange, ne nnyimirira we nkuumira ne nneeteka ku munaala, ne nnengera okulaba by'anaayogera nange, era ne bye n'addamu ebikwata ku by'okwemulugunya kwange.
2
Awo Mukama n'anziramu n'ayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo okwole bulungi ku bipande,” alyoke adduke mbiro oyo abisoma.
3
Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, tekulirimba, bwe kuba nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.
4
Laba oyo emmeeme ye nga si ngolokofu, aliremererwa, naye omutuukirivu aliba mulamu lwa kukkiriza kwe.
5
“Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, omusajja owa malala tayinza kuyimirira. Omululu gwe mugazi nga amagombe, ng'okufa, takkutanga, yekuŋŋaanyiza gy'ali amawanga gonna, era ateeka wamu abantu bonna nga ababe.”
6
Abo bonna tebalimugererako lugero ne bamukokkolerako ekikokko ne boogera nti, “Zimusanze oyo eyeetuumako ebyo ebitali bibye! Alituusa wa? Era eyeebinika emisingo!”
7
Tebalisituka abakubanja nga totegedde, tebalizuukuka abalikweralikiriza? Naawe olibeera munyago gwabwe.
8
Kubanga wanyaga amawanga mangi, ekitundu kyonna ekifisseewo ku mawanga ago naawe balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'obukambwe bwe wakola ku nsi, n'ekibuga ne bonna abakibeeramu.
9
Zimusanze oyo afuna ennyumba ye ku magoba amabi, azimba ekisu kye waggulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubi!
10
Oleteedde ennyumba yo ensonyi, ng'omalawo amawanga mangi, era wasobya emmeeme yo ggwe.
11
Kubanga ejjinja liryogerera waggulu nga linsinzira mu kisenge, n'omuti guliriddamu nga gusinziira mu misekese.
12
Zimusanze oyo azimba ekibuga n'omusaayi, era atandika ekibuga ku butali butuukirivu!
13
Laba, tekyava eri Mukama w'eggye abantu okutengejjera omuliro, n'amawanga okwekooyeeseza obwereere?
14
Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amazzi bwe gasaanikira ku nnyanja.
15
Zimusanze oyo awa baliraanwa be eby'okunywa ku kikompe eky'obukambwe, n'abatamiiza alyoke atunuulire ensonyi zaabwe!
16
Ojjudde ensonyi mu kifo ky'ekitiibwa, nywa era otagatte! ekikompe ekiri mu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa gyoli, n'ensonyi zirisaanikira ekitiibwa kyo!
17
Kubanga obukambwe obw'akolebwa ku Lebanooni bulikusuukirirako, n'okuzikirira kw'ensolo ku likutiisa, olw'omusaayi gw'abantu n'obukambwe eby'akolebwa ku nsi n'ebibuga ne bonna ababituulamu.
18
Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Omukozi waakyo n'okwola n'akyola, ekifaananyi ekisaanuuse, n'omuyigiriza w'eby'obulimba bigasa ki? Kubanga omukozi w'omulimu yeesiga ekyo ky'akoze, bw'akola ebifaananyi ebitayogera!
19
Zimusanze oyo agamba ekintu eky'omuti nti, “Zuukuka!” Era agamba ejjinja eritayogera nti, “Golokoka!” Kino kiyinza okuvaako okubikkulirwa? Laba, kibikkiddwako zaabu ne ffeeza, naye tekirimu mukka gwa bulamu mu kyo.
20
Naye Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; ensi zonna zisirike mu maaso ge.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3