bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Habakkuk 3
Habakkuk 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Okusaba kwa Kaabakuuku nnabbi, okw'Ekisigiyonosi.
2
Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo n'entya; Ayi Mukama, zuukiza omulimu gwo wakati mu myaka, Gumanyise wakati mu myaka; Awali obusungu, jjukira okusaasira.
3
Katonda yajja ng'ava e Temani, Era Omutukuvu yajja ng'ava ku lusozi Palani, Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu, era ensi n'ejjula ettendo lye. Seera
4
N'okumasamasa kwe kwali ng'ekitangaala; Okumyansa kwava mu mukono gwe, Era omwo mwe yakweka amaanyi ge.
5
Okuzikirira kwamukulemberamu, kawumpuli n'amuvaako emabega.
6
Yayimirira n'agera ensi; Yatunula n'ayugumya amawanga Ensozi ez'olubeerera ne zisaasaana, Obusozi obutaggwaawo ne bukutama; Okutambula kwe kwali nga bwe kwabanga edda.
7
Nnalaba eweema za Kusani nga ziri mu nnaku; Amagigi ag'ensi ya Midiyaani ne gakankana.
8
Mukama yanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku migga, Oba ekiruyi kyo kyali ku nnyanja, N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo, N'olinnya ku magaali go ag'obulokozi?
9
Omutego gwo gwasowolerwa ddala; Ebirayiro bye walayirira ebika byali bigambo bya nkalakkalira. (Seera) Ensi wagyasaamu n'emigga.
10
Ensozi zaakulaba ne zitya; Amataba ag'amazzi ne gayitawo, Ennyanja yaleeta eddoboozi lyayo, N'esitula amayengo gaayo waggulu.
11
Enjuba n'omwezi ne biyimirira mu kifo kyabyo mwe bibeera; Olw'ekitangaala ky'obusaale bwo ne bidduka, Olw'okwakaayakana kw'effumu lyo erimasamasa.
12
Watambula okuyita mu nsi ng'oliko ekiruyi, N'olinyirira amawanga mu busungu.
13
Wafuluma okuleetera abantu bo obulokozi, Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukako amafuta; Wabetenta omutwe gw'omubi, N'asigala bwereere okuva ku bisambi okutuuka ku nsingo (Seera).
14
Wafumita n'amafumu omutwe gw'abalwanyi be; Bajja ng'embuyaga ez'akazimu okunsaasaanya, Okusanyuka nga agenda okulya omwavu mu kyama.
15
Walinnyirira ennyanja n'embalaasi zo, Entuumu ey'amazzi ag'amaanyi.
16
Mpulira, era omubiri gwange gukankana, Emimwa gyange ne gijugumira olw'eddoboozi; Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange, Nja kulinda mu kasirise olunaku olw'okulabiramu ennaku, Bwe zirijja eri abantu abatutabaala.
17
Kubanga omutiini newakubadde nga tegwanya, So n'emizabbibu nga tegiriiko bibala; Emizeyituuni ne bwe gifa, era nga bateganira bwereere, Ennimiro ne bwezitaleeta mmere yonna; Embuzi nga zimaliddwawo mu kisibo, So nga tewali na nte mu biraalo,
18
Era naye ndisanyukira Mukama, ndijaguliza Katonda ow'obulokozi bwange
19
Yakuwa, Mukama, ge maanyi gange, Naye afuula ebigere byange okuba ng'eby'empeewo, Era alintambuliza ku bifo ebigulumivu. Ya mukulu w'Abayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3