bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
James 2
James 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
1
Ab'oluganda, temubanga na kukkiriza kwa Mukama waffe Yesu Kristo ow'ekitiibwa, ate ne muba n'okusosolanga mu bantu.
2
Kubanga bw'ayingira mu kkuŋŋaaniro lyammwe omuntu alina empeta eya zaabu ayambadde eby'obuyonjo, era n'omwavu ayambadde enziina n'ayingira,
3
nammwe ne mwaniriza ayambadde ebyambalo eby'obuyonjo, ne mwogera nti, “Ggwe tuula wano awalungi,” era ne mugamba omwavu nti, “Ggwe yimirira eri,” oba “Tuula wansi awali ebigere byange;”
4
nga temwawukanye mu mmwe mwekka, ne mufuuka abalamuzi ab'ebirowoozo ebibi?
5
Muwulire, baganda bange abaagalwa; Katonda teyalonda abalina obwavu bw'omu nsi okubeeranga n'obugagga obw'okukkiriza, n'okusikira obwakabaka bwe yasuubiza abamwagala?
6
Naye mmwe mwanyooma omwavu. Abagagga si be babajooga ne babawalula bennyini ne babatwala awasalirwa emisango?
7
Si beebo abavuma erinnya eddungi lye muyitibwa?
8
Naye bwe muba mutuukiriza etteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka,” mukola bulungi.
9
Naye bwe munaasosolanga mu bantu, nga mukoze kibi, ne musingibwa amateeka ng'aboonoonyi.
10
Kubanga omuntu yenna bw'aba akwata amateeka gonna, naye n'asobya mu limu, ng'azzizza omusango gwa gonna.
11
Kubanga oyo eyayogera nti, “Toyendanga,” ate yayogera nti, “Tottanga.” Kale bw'otoyenda naye n'otta, ng'ofuuse mwonoonyi w'amateeka.
12
Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng'abagenda okusalirwa omusango n'amateeka ag'eddembe.
13
Kubanga omusango tegubaako kusaasirwa eri atasaasira, naye okusaasira kuwangula omusango.
14
Kigasa kitya, ab'oluganda, omuntu bw'ayogera ng'alina okukkiriza, naye n'ataba na bikolwa? Okukkiriza okwo kuyinza okumulokola?
15
Bwe wabaawo ow'oluganda omusajja oba mukazi nga bali bwereere, ng'emmere eya buli lunaku tebamala,
16
era omu ku mmwe bw'abagamba nti, “Mugende n'emirembe mubugume, mukkute,” naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya?
17
Era n'okukkiriza bwe kutyo, bwe kutabaako bikolwa, kwokka nga kufudde.
18
Naye omuntu alyogera nti, “Ggwe olina okukkiriza, nange nnina ebikolwa.” Ndaga okukkiriza kwo awatali bikolwa byo, nange olw'ebikolwa byange nnaakulaga okukkiriza kwange.
19
Okkiriza nga Katonda ali omu; okola bulungi, era ne badayimooni bakkiriza, ne bakankana.
20
Naye oyagala okutegeera, ggwe omuntu ataliimu, ng'okukkiriza awatali bikolwa tekuliiko kye kugasa?
21
Ibulayimu jjajjaffe teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, bwe yawaayo Isaaka omwana we ku kyoto?
22
Olaba ng'okukkiriza kwakolera wamu n'ebikolwa bye, era okukkiriza kwe kwatuukirizibwa olw'ebikolwa bye.
23
Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekyogera nti, “Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu;” n'ayitibwa mukwano gwa Katonda.
24
Mulaba ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka.
25
Era ne Lakabu omwenzi bw'atyo teyaweebwa butuukirivu lwa bikolwa, kubanga yasembeza ababaka, n'abayisa mu kkubo eddala?
26
Kuba ng'omubiri awatali mwoyo bwe guba nga gufudde, era n'okukkiriza bwe kutyo awatali bikolwa nga kufudde.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5