bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
James 4
James 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
1
Entalo ziva wa n'okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe?
2
Mwegomba so temulina, mutta, era mwegomba, so temuyinza kufuna, mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba.
3
Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi, mulyoke mubikozese okwegomba kwammwe.
4
Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng'omukwano gw'ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw'ayagala okubeera mukwano gw'ensi yeefuula mulabe wa Katonda.
5
Oba mulowooza ng'ekyawandiikibwa kyogerera bwereere nti, “Alina obuggya olw'Omwoyo gwe yatuuza mu ffe?”
6
Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti, “Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.”
7
Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.
8
Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.
9
Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe, okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essanyu lifuuke okunakuwala.
10
Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama, naye alibagulumiza.
11
Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango amateeka, naye bw'osalira omusango amateeka, nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango.
12
Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n'okuzikiriza. Naye ggwe ani asalira munno omusango?
13
Kale nno mmwe aboogera nti, “Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi, tulimalayo omwaka gumu, tulitunda, tulifuna amagoba;”
14
naye nga temutegeera bya nkya. Obulamu bwammwe buli nga ki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo.
15
Mwandyogedde nti, “Mukama waffe bw'alyagala, tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.”
16
Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe, okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi.
17
Kale amanya ekirungi eky'okukola n'atakikola, eri oyo kiba kibi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
Recommended Reading
Commentary
James Commentaries
→
Devotional
James Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→