bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
James 3
James 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
1
Temubeeranga bayigiriza bangi, baganda bange, nga mumanyi nga ffe abayigiriza tulisalirwa omusango ogusinga obunene.
2
Kubanga ffenna tusobya mu bingi. Omuntu yenna bw'atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira, ayinza okuziyiza era n'omubiri gwe gwonna.
3
Naye bwe tuteeka ebyuma eby'embalaasi mu mimwa gyazo ziryoke zitugonderenga, tuyinza okufuga emibiri gyazo gyonna.
4
Laba, era n'emeeri, newakubadde nga nnene bwe zityo, era nga zitwalibwa empewo ez'amaanyi, enkasi entono ennyo ye zigoba yonna yonna omugoba gy'asiima mu kwagala kwe.
5
Era n'olulimi bwe lutyo kye kitundu ekitono, era lwenyumiriza nnyo. Laba, emiti emingi egyenkanidde awo okwokebwa akaliro akatono bwe katyo.
6
N'olulimi muliro, ensi ey'obubi mu bitundu byaffe lwe lulimi, olwonoona omubiri gwonna, era olukoleeza nnamuziga w'ebitonde byonna, era olukoleezebwa Ggeyeena.
7
Kubanga buli ngeri ey'ensolo n'ennyonyi n'ebyewalula n'ebyennyanja bifugika era byafugibwa dda abantu.
8
Naye olulimi tewali muntu ayinza kulufuga; bubi obutaziyizika, lujjudde obusagwa obutta.
9
Olwo lwe tutenderezesa Mukama waffe ye Kitaffe; era olwo lwe tukolimiza abantu abaakolerwa mu kifaananyi kya Katonda.
10
Mu kamwa ke kamu mwe muva okutendereza n'okukolima. Ab'oluganda, ebyo tekibigwanira kubeera bwe bityo.
11
Ensulo ekulukuta amazzi amalungi n'agakaawa mu liiso erimu?
12
Omutiini guyinza, ab'oluganda, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.
13
Ani alina amagezi n'okutegeera mu mmwe? Mu mpisa ennungi alagenga ebikolwa bye mu buwombeefu n'amagezi.
14
Naye bwe muba n'obuggya obukambwe, n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima.
15
Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani.
16
Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi.
17
Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.
18
Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
Recommended Reading
Commentary
James Commentaries
→
Devotional
James Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→