bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joel 1
Joel 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yoweeri mutabani wa Pesweri.
2
Muwulire kino, mmwe abakadde, era mutege amatu, mmwe mwenna abatuula mu nsi ya Yuda! Kino kyali kibaddewo mu biro byammwe? Oba mu biro bya bajjajjammwe?
3
Kino mukibuulire abaana bammwe, n'abaana bammwe bakibuulire abaana baabwe, n'abaana baabwe bakibuulire ab'emirembe egiriddirira.
4
Ebyo akawuka bya kafissizzawo enzige ebiridde; n'ebyo enzige bye fissizzaawo kalusejjera kabiridde; n'ebyo kalusejjera bye kafissizzaawo akaacaaka kabiridde.
5
Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mukaabe amaziga; muwowoggane, mmwe mwenna abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomerevu, kubanga gumaliddwawo okuva mu kamwa kammwe.
6
Kubanga eggwanga litabadde ensi yange, ly'amaanyi, era omuwendo gwabwe tegubalika; amannyo gaalyo galinga ag'empologoma, n'amasongezo gaalyo galinga ag'empologoma enkazi.
7
Lizikirizza emizabbibu gyange, era lyabuluzamu emiti gyange emitiini; ligisasambuddeko ebikuta era ligisulidde ddala wansi; amatabi gaagyo gafuuse meeru.
8
Kukungubaga ng'omuwala embeerera eyesibye ebibukutu bw'akungubagira bba, ow'obuvubuka bwe.
9
Ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliddwawo okuva mu nnyumba ya Mukama. Bakabona bakungubaga, abaweereza ba Mukama.
10
Ennimiro zizise, ensi ewuubaadde; kubanga eŋŋaano ezikiriziddwa, omwenge omusu guweddewo, n'amafuta gaweddewo.
11
Munakuwale mmwe abalimi, mukungubage mmwe abawawaagula emizabbibu, olw'eŋŋaano ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nnimiro bizikiridde.
12
Omuzabbibu guwotose, n'omutiini guyongobera, omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emiti gyonna egy'omu nnimiro giwotose; era n'essanyu lya baana b'abantu liweddewo.
13
Mwesibe ebibukutu mukungubage, mmwe bakabona; muwowoggane, mmwe abaweereza ab'oku kyoto. Mugende munda, muyite mu kiro nga muli mu bibukutu, mmwe abaweereza ba Katonda wange! Kubanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa bikwatiddwa okuva mu nnyumba ya Katonda wammwe.
14
Mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu, mukuŋŋaanyize abakadde ne bonna abali mu nsi mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe, era mumukaabire Mukama.
15
Zitusanze olw'olunaku! Kubanga olunaku lwa Mukama lunaatera okutuuka, era lulijja ng'okuzikiriza okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.
16
Emmere temaliddwawo ffe nga tulaba, essanyu n'okujaguza okuva mu nnyumba ya Katonda waffe tebikomye?
17
Ensigo zivunda okuva mu bikuta byazo, amawanika galekeddwawo, amaterekero goonooneddwa; kubanga eŋŋaano eweddewo.
18
Ensolo nga zisinda! Amagana g'ente gasobeddwa, kubanga tezirina muddo; weewaawo, n'ebisibo by'endiga birekeddwawo.
19
Ayi Mukama, ggwe nkaabirira; kubanga omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu, n'ennimi zaagwo zookezza emiti gyonna egy'omu nnimiro.
20
Weewaawo, ensolo ez'omu nsiko zikuwankirawankira; kubanga emigga egy'amazzi gikalidde, n'omuliro gwokezza amalundiro ag'omu ddungu.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3