bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joel 2
Joel 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
1
Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mukube enduulu ku lusozi lwange olutukuvu! Abantu bonna abali mu nsi bakankane, kubanga olunaku lwa Mukama lujja, era luli kumpi,
2
olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, era olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte! Ng'ekizikiza ekikutte, lisaasanira ku nsozi, abantu abangi era abamaanyi; tewabangawo babafaanana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okuyita mu myaka emirembe gyonna.
3
Omuliro gwokya mu maaso gaabwe, era emabega waabwe ennimi z'omuliro zaaka. Ensi eri ng'Olusuku lwa Adeni, oluli mu maaso gaabwe, naye emabega waabwe ddungu eryazika, era tewali kiwona ku zo.
4
Enfaanana yaazo eringa ey'embalaasi, era ziddukanga ng'embalaasi bwe zidduka mu lutalo.
5
Zibuukira ku ntikko z'ensozi, nga ziwuuma ng'amagaali, era ng'omuliro bwe gutulika nga gwokya ebisambu, ng'eggye ery'amaanyi eryetegese okulwana olutalo.
6
Mu maaso gaazo abantu banyikaavu; amaaso ga buli omu gafuuse ebbala.
7
Ng'abalwanyi zirumba, ng'abasserikale zirinnya bbugwe, era zitambulira mu kkubo lyazo, nga tewali n'emu eva ku mugendo.
8
Tewali eziyiza ginnaayo kugenda, buli emu esimba n'etambulira mu kkubo lyayo, era ziwaguza awali eby'okulwanyisa, ne watabaawo aziziyiza.
9
Zifubutuka ne zizinda ekibuga, zibuna bbugwe wa kyo, ziwalampa ne zituuka mu nnyumba, ziyingirira mu madirisa ng'omubbi.
10
Ensi ekankana mu maaso gaazo, eggulu lijugumira. Enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo.
11
Mukama ayogera n'eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye, kubanga eggye lye ddene era lya maanyi. Oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi. Olunaku lwa Mukama lukulu lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulugumira?
12
“Era naye ne kaakano,” bw'ayogera Mukama, “munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala;
13
era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe.” Mukyukire Mukama Katonda wammwe, kubanga wa kisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi.
14
Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa, n'abalekera omukisa, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunnywa eri Mukama Katonda wammwe?
15
Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mulangirire okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu.
16
Mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato, n'abawere abayonka, omugole omusajja ave mu kisenge kye, n'omugole omukazi ave mu nju ye.
17
Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti, “ Saasira abantu bo, ayi Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, n'amawanga okubafuga. Kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti, ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”
18
Awo Mukama n'alumirirwa ensi ye, era n'asaasira abantu be.
19
Awo Mukama n'addamu n'agamba abantu be nti, “Laba, mbaweereza eŋŋaano, omwenge n'amafuta, era mulikutta; so siribafuula nate kivume eri amawanga.”
20
“Ndibaggyako eggye ery'obukiikakkono ne nditwala wala, era ndibagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, mu maaso ge mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'emabega we mu nnyanja ey'ebugwanjuba; ekivundu n'okuwunya kwabwe okubi kulirinnya, kubanga bakoze ebikulu.
21
Totya, ggwe ensi, sanyuka era ojaguze; kubanga Mukama akoze ebikulu.
22
Temutya mmwe ensolo ez'omu nsiko; kubanga amalundiro ag'omu ddungu gaafuuse ga kiragala, omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gibaze ebibala bingi.
23
Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukama Katonda wammwe; kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba eya ttoggo n'eya ddumbi, nga bwe yagibatonnyesezanga edda.
24
Amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galibooga omwenge n'amafuta.
25
Era ndibaddizawo emyaka gye mwafiirwa ne byonna enzige bye zalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye eddene lye n'asindika okubalumba.
26
Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mukkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe abakoledde eby'ekitalo. Abantu bange tebaliddayo nate kuswazibwa.
27
Mulimanya nga ndi wakati mu mmwe Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala. Abantu bange tebaliddayo nate kuswazibwa.”
28
Awo olulituuka oluvannyuma lw'ebyo ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa.
29
Ku baddu n'abazaana bammwe mu nnaku ezo nabo ndibafukako omwoyo gwange.
30
Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka.
31
Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi gulifuuka omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunatuuka.
32
Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama, alirokoka; kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, era mu baliwonawo, mulibaamu abo Mukama b'aliyita.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3