bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Joel 3
Joel 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
1
Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndizzawo emikisa gya Yuda ne Yerusaalemi,
2
ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosafaati, kale ndisinzira eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyiriza mu mawanga ne bagabana Isiraeri ensi yange.
3
Era bakubidde abantu bange obululu, baatunda omulenzi okusasulira omukazi omwenzi, ne batunda omuwala okugula omwenge, banywe.
4
Kiki kyemuli gyendi mmwe Ttuulo ne Sidoni n'ebitundu byonna ebya Abafirisuuti? Mulina ekintu kye musasulira? Bwe muba mulina kye munsasula, nange ndyanguwa mangu okubeesasuza.
5
Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, era ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi eby'omuwendo.
6
Mwatunda abantu abe Yuda n'abe Yerusaalemi eri Abayonaani, ne mubatwala ewala n'ensalo yaabwe.
7
“Naye kaakano nja kubaggya gye mwabatunda, era nammwe ndyoke mbasasule ekyo kye mwabakola.
8
Nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe eri abantu ba Yuda, nabo balibaguza abasajja ab'e Seba, eggwanga eriri ewala; kubanga Mukama ya kyogedde.”
9
Mulangirire kino mu mawanga, mutegeke olutalo, muyite abasajja ab'amaanyi; abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke.
10
Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe mubiweeseemu amafumu. Omunafu ayogere nti, “Ndi mulwanyi.”
11
Mwanguwe mujje, mmwe mwenna ab'amawanga ageetooloddewo mwekuŋŋaanyize eyo. Leeta gyetuli abalwanyi bo, ayi Mukama.
12
Amawanga gasituke gaserengete mu kiwonvu kya Yekosafaati; kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetooloddewo.
13
Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde. Muyingire, musambe, kubanga essogolero lijjudde. Amabanvu gayiika, kubanga obubi bwabwe bungi.
14
Oluggube, oluggube, lw'abantu bali mu kiwonvu omw'okusalirawo! Kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu omw'okusalirawo.
15
Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zireseeyo okwaka kwazo.
16
Awo Mukama awuluguma ng'asinziira mu Sayuuni, eddoboozi lye libwatukira mu Yerusaalemi, era eggulu n'ensi bikankana. Naye Mukama kiddukiro eri abantu be era ekigo eky'amaanyi eri abaana ba Isiraeri.
17
Bwe mutyo mulimanya nga nze Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu. Yerusaalemi kiriba kitukuvu, era tewaliba bannamawanga abalikiwangula nate.
18
Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu, n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, ne lufukirira ekiwonvu Sittimu.
19
Misiri erifuuka matongo, ne Edomu erifuuka ddungu eryalekebwawo, olw'obukambwe obwakolebwa ku bantu ab'omu Yuda, kubanga bayiwa omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe.
20
Naye Yuda alibeeramu abantu ennaku zonna, era ne Yerusaalemi okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna anaabanga bwatyo.
21
Era ndiwoolera eggwanga olw'abo abattibwa, siritaliza bazziza musango, kubanga Mukama abeera mu Sayuuni.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
All chapters:
1
2
3