bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Malachi 2
Malachi 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
1
“Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe.
2
Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe; weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga temukissa ku mwoyo.
3
Laba, ndinenya abaana bammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe, obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo.
4
Awo mulimanya nga nze nnaweereza ekiragiro kino gye muli, endagaano yange ebeere ne Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
5
Endagaano yange naye, yabanga ndagaano ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange.
6
Okuyigiriza okw'amazima kwabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gyabwe. Yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu.
7
Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era abantu bandinoonyeza okuyigirizibwa okuva mu kamwa ke, kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye.
8
Naye mmwe mukyuse mukyamye muvudde mu kkubo; mwesittazizza bangi olw'okuyigiriza kwammwe; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
9
Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa, abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, kubanga mufubye obutakwata makubo gange, naye ne mulaga obutali bwenkanya mu kuyigiriza kwammwe.”
10
Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki tetuli ba mazima buli muntu eri muganda we, nga twonoona endagaano, ya bajjajjaffe?
11
Yuda si wa mazima, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi; kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga.
12
Mukama azikirize okuva mu weema ya Yakobo, omusajja akola bw'atyo, yenna awa obujulizi, oba addamu, oba awaayo ekiweebwayo eri Mukama w'eggye.
13
Era na kino nakyo mukikola, mubikka ekyoto kya Mukama n'amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, kubanga n'okussaayo takyassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo, wadde okukkiriza mu mukono gwammwe kye mumuleetera ng'asiimye.
14
Mwebuuza nti, “Lwaki?” Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano.
15
Era teyakola omu? Newakubadde nga yalina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe.
16
“Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.”
17
Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti, “Twamukooya tutya?” Kubanga mwogera nti, “Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira;” oba nga mwebuuza nti, “Katonda omwenkanya ali ludda wa?”
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4