bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Malachi 4
Malachi 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
1
“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amalala bonna, n'abo bonna abakola obubi, baliba bisasiro; awo olunaku olujja lulibookera ddala,” bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.
2
Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo.
3
Era mulirinnyirira ababi, kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye.
4
Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, amateeka n'ebiragiro ge nnamulagiririra ku Kolebu, olwa Isiraeri yenna.
5
“Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka.
6
Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
All chapters:
1
2
3
4