bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Malachi 3
Malachi 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
1
“Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange, era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka we gwe musanyukira, laba, ajja,” bw'ayogera Mukama w'eggye
2
Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? Era ani aliyimirira ye bw'alirabika? Kubanga aliŋŋaanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi.
3
Alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; okutuusa lwe baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.
4
Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo.
5
“Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo, n'eri abenzi, n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya empeera y'omupakasi. Nnamwandu n'atalina kitaawe, n'abawonya era n'abo abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye.
6
Kubanga nze Mukama sijjululuka; mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.”
7
Okuva ku nnaku za bajjajjammwe, nga mukyuka n'emukyama okuva ku biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nti, “Tunadda tutya”
8
Omuntu alinyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti, “Twakunyaga tutya?” Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo.
9
Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze, eggwanga lino lyonna.
10
Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw'ayogera Mukama w'eggye, mulabe oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.
11
Ndiziyiza ebiwuka obutazikiriza birime byammwe, so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12
Era amawanga gonna galibayita ba mukisa, kubanga muliba ensi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.
13
“Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu gyendi, bw'ayogera Mukama. Era mwayogera nti, ‘Twakwogerako tutya?’
14
Mwayogera nti, ‘Okuweereza Katonda kwa bwereere, era kigasa ki okukwata ebyo bye yatukuutira, n'okutambula nga abakungubaga mu maaso ga Mukama w'eggye?
15
Era kaakano ab'amalala be tuyita ab'omukisa; weewaawo, abo abakola obubi tebakoma ku kuba bulungi kwokka; naye bwe bakema Katonda bawonyezebwa.’ ”
16
Awo abo abatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka; Mukama n'awuliriza, n'awulira bye boogera, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abatya Mukama era ne balowooza erinnya lye.
17
“Era baliba bange, bw'ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we amuweereza.
18
Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.”
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4