bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Nahum 1
Nahum 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
1
Obubaka obukwata ku Nineeve. Ekitabo omuli okwolesebwa kwa Nakkumu, Omwerukoosi.
2
Mukama ye Katonda w'obuggya, era awalana eggwanga. Mukama awooleera eggwanga, era wa busungu bungi nnyo. Abonereza abo abamukyawa era abasibira ekiruyi.
3
Mukama tatera kusunguwala, ate nga wa maanyi mangi, era tayinza n'akatono butabonereza oyo azzizza omusango. Ekkubo lya Mukama lyayitamu liri mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ye nfuufu ebigere bye gye bisitula,
4
alagira ennyanja n'ekalira, era n'emigga gyonna agikaza. Ennimiro ze Basani ne Kalumeeri zibabuse, n'ebimuli by'oku Lebanooni biwotose.
5
Mu maaso ga Mukama ensozi zikankana, obusozi ne busaanuuka, ettaka ne lyatikayatika. Ensi yonna n'abagiriko ne bizikirizibwa.
6
Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng'asunguwadde? Ani ayinza okugumira obusungu bwe ng'aswakidde? Obukambwe bwe bubuubuuka ng'omuliro, n'enjazi zaatikayatika olw'obusungu bwe.
7
Mukama mulungi, kigo ky'abamwesiga ku lunaku olw'okulabirako ennaku, alabirira abo abamwesiga.
8
Naye alisaanyizaawo ddala abamukyawa n'omujjuzo gw'amazzi, era abalabe be alibagobera mu kizikiza.
9
Kiki kye muteesa okukola ku Mukama? Ajja kubazikiririza ddala! Tewali ayinza kumuwakanya mirundi ebiri,
10
newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era ng'abanywi b'omwenge abatamidde, balyokerwa ddala ng'ekisambu ekikaze.
11
Mu ggwe Nineeve muvuddemu omuntu alina endowooza embi, ateesa okukola akabi ku Mukama.
12
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “Newakubadde nga balina amaanyi mangi, ate nga bangi, balizikirira baggweerewo ddala. Newakubadde nga nnababonyaabonya mmwe, naye sikyababonyaabonya nate.
13
Kaakano nja kumenya ekikoligo ky'Abasuuli kibaveeko, era n'ebibasibye nnabikutulakutula.”
14
Bino Mukama byalagidde ebikwata ku Nineeve, “Temulifuna bazzukulu balituumibwa mannya gammwe. Ndizikiriza ebifaananyi ebyole n'ebisaanuuse ebiri mu nnyumba ya bakatonda bo. Ndibasimira entaana kuba muyitiridde obugwagwa.”
15
Yimusa amaaso, tunula ku nsozi, laba omubaka ajja abuulirira ebigambo ebirungi, alangirira emirembe! Ggwe Yuda kwata embaga zo entukuvu, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga ababi tebakyaddamu kubalumba mmwe, bazikiririziddwa ddala.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3